
Bya Samuel Stuart Jjingo
Bulange – Mmengo
Empaka z’ omupiira gw’ Ebika ez’ omwaka guno zengedde nga omupiira gw’ e bigere okuggulawo gujja kubaawo nga 3 ow’ okutaano mu kisaawe e Wankulukuku ate Omubaka kubeewo wakati wa 25-27 ogw’ okuna.
Enteekateeka eno eyanjuddwa Minisita Sserwanga bw’ abadde assisinkanye Olukiiko olukulu olutegeka Empaka z’Ebika ku Bulange e Mmengo ku Lwokuna.

Mu kwayanjula enteekateeka eno, Minisita w’Ebyemizanyo, Owek. Robert Sserwanga agamba nti mu basajja Engabi ennyunga ejja okuggulawo n’ Akasimba.
Owek. Sserwanga ategeezezza nti omwaka guno empaka zino zigenda mujja kubaamu; ekiggo, omweso, omupiira gw’abaana abato abaka wansi w’emyaka 12 awamu n’abasajja abasussa emyaka 35 nga bali 7 mu busaawe obufunda, omupiira wamu n’okubaka.

Ono akoowodde abantu bonna mu Bika byabwe okwetaba mu mpaka z’Emipiira gy’Ebika omwaka gunno kubanga zamuwendo nnyo olw’okuba nga Omutanda yawezeza emyaka 70 egy’ekitiibwa.