
Bya Shafik Miiro
Kyaggwe
Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone Owek. Robert Serwanga Ssaalongo leero nga 19 Gatonnya atongozza empaka z’Omupiira gw’Eggombolola mu Buganda ng’asinziira mu Ssaza Kyaggwe.
Empaka zino zizannyibwa mu masaza ga Buganda gonna 18, nga mu buli ssaza zituumibwa erinnya ly’Omwami wa Kabaka atwala Essaza. E Kyaggwe, Ssekiboobo Cup etandise n’omupiira wakati w’eggombolola Mut. IV Kawuga ne Mumyuka Nakifuma, oguwedde nga Hassan Ssentongo ateebedde Kawuga ggoolo emu (1) ewadde ttiimu ye obuwanguzi.
Minisita Serwanga atendereza omutindo ogwoleseddwa abazannyi mu mupiira guno ogusoose era n’ategeeza nti omwaka guno basuubira okwongera okulaba omutindo omulungi n’okusinga ku mwaka oguwedde.

Owek. Sserwanga agamba nti empaka zino zakwongera okuzuula n’okuzimba abazannyi abanaazanyira Ebika n’Amasaza gaabwe ate n’okuzannya ku mutendera gw’Eggwanga.
Ono akubirizza empisa mu bazannyi, abawagizi ba ddiifiri n’abakulembeze ba ttiimu ez’enjawulo b’omupiira okusobola okufuna emizannyo emirungi n’okukuuma ekitiibwa ky’Obwakabaka.
Omwami w’ essaza Kyaggwe, Ssekiboobo Vincent Matovu Bintubizibu yebazizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’enteekateeka ez’enjawulo eziyamba abavubuka omuli n’empaka nga zino eziyamba okutumbula ebitone mu Bavubuka n’okubakumaakuma okubeera obumu.
Ssekiboobo Matovu ategeezezza nti empaka zino zaakubayamba okuzuula abazannyi abanazannyira Essaza omwaka guno, basobole okuvuganya obulungi.
Abaami b’Eggombolola ezibadde mu nsiike bonna baweze okuteekawo omutindo omulungi era nga buli omu yeesunga kuwangula kikopo kya mwaka guno. Ggombolola. Mut. IV Kawuga omwaka ogwaggwa ye yawangula empaka Ssekiboobo Cup ate n’omwaka guno egguddewo na buwanguzi.

Mu mbeera y’emu, mu Ssaza Buddu nayo Pookino Cup etandise n’emipiira mu kibinja Ssuuna ekya ttiimu 4; Mut. V Kakuuto, Mut. XIX Kasasa, Mut. IV Kyebe ne Mut. IX Kamungoro. Kyokka Mut IX Kamugoro terabiseeko era emipiira 3 gyokka gye gizanyiddwa era giwedde bwe giti; Kasasa 5: 0 Kyebe, Kyebe 0:4 Kakuuto n’amaliri aga 1:1 wakati wa Kakuuto ne Kasasa.
Gye biggweredde nga ggombolola Mut. XIX Kasasa ne Mut. V Kakuuto ziyiseewo okugenda ku mutendera oguddako ate Kyebe ne Kamungoro ne zikoma awo.
Empaka zino zijja kukomekkerezebwa mu mwezi gw’okusatu (Mugulansigo) nga 30.