
Bya Miiro Shafik
Nga 12/05/2013, Ssaabasajja Kabaka yasiima Munnamateeka Charles Peter Mayiga okumulamulirako Obuganda nga Katikkiro ow’okutaano ku mulembe Omutebi.
Katikkiro Charles Peter Mayiga ategese akabaga ak’okwebaza Katonda n’okujaguza emyaka 12 egiweze mu mwaka 2025 ng’akuuma ddamula. Akabaga kano kategekeddwa mu maka ga Katikkiro amatongole ‘Butikkiro’ e Mmengo.
Katikkiro Mayiga agamba nti emyaka 12 ku bwa Katikkiro ssi kya kuzannya olw’ebyo ebyetoololera ku kitiibwa kino n’obuvunanyizibwa obukujjirako era ono azze ajjukiza abantu olugero olugamba nti “Obwakatikkiro ndoddo, yetikkwa mumalirivu”. Kyokka yebazizza Obuganda okumukwatirako ebbanga lino lyonna.

“Nneebaza Beene okunkwasa obuvunanyizibwa okumulamulirako Obuganda, kati emyaka 12 be ddu. Beene yampita n’antegeeza nga bwe yali asiimye nti ngenda kubeera Katikkiro, bwe yali ansiibula yangamba nti wetuli, era embedde ebbanga lino lyonna nneeyanze nnyo” Katikkiro Mayiga.
Yebazizza Aboolulyo Olulangira bonna, Abataka Abakulu Aboobusolya, Kabineeti gy’akoze nayo, Abaami Abaamasaza, Bassenkulu b’ebitongole, abaweereza mu Bulange bonna, emikwano n’Obuganda bwonna olw’okumuwagira mu nsonga ez’enjawulo n’asobola okubaako by’akoze mu buvunanyizibwa Kabaka bwe yamutuma.
“Nneebaza nnyo mukyala wange, agumidde bingi, abaana baffe n’abomusaayi gwange bonna, ewaka bwe batakuwa mirembe n’emirimu gikukalubirira, kyokka bano bambedde era bwe mbabeeramu mba mu ddembe” Owek. Mayiga
Owoomumbuga Mayiga annyonnyola nti yalangirirwa ku bwa Katikkiro nga 12/05/2013 era emirimu n’agutandikirawo enkeera nga 13, ate omukolo gw’okumukwasa ddamula gwaliwo nga 29/05/2025. Ono agamba nti amawulire agasooka agalaga nti ye Katikkiro gaamusanga mu saluuni ng’asala nviiri. Kyokka okulangirira okutongole kwafuluma nkeera mu mikutu gy’amawulire gyonna.
“Mu bbanga lino ntalaaze Obuganda bwonna n’ebweru era abantu ba Kabaka okusingira ddala abavubuka banyanirizza era enteekateeka ze tubadde twanjula baziwagidde era nsiima nnyo Obuganda” Katikkiro Mayiga.
Mu kugenda mu maaso n’okuweereza Kabaka we, mu bigambo bye Katikkiro agamba nti “nga ntandika omwaka guno ogw’ekkumi n’esatu (13) nga nkuuma ddamula, mbasaba tutambulire wamu, tuwangane amagezi, tuyambagane, tube bumu, twebungulule nnamulondo, tujja kusobola okuzza Buganda ku ntikko”
Ku mukolo guno Omulangira Ronald Mulondo ng’ono ye mwami wa Kabaka amukulembererako essaza Bulemeezi ‘Kangaawo’ y’abadde omwogezi ow’enjawulo era afunzizza ebimu kw’ebyo ebituukiddwako mu myaka 12, omuli okusitula ekitiibwa kya Buganda, enkulaakulana mu byobulamu, ebyenjigiriza, ebyobulimi, obuwangwa, ebyobulambuzi, ebyemizannyo, ebyabavubuka, okunyweza obumu n’ebirala.
Bingi buli muntu agoberera ensonga za Buganda ne Uganda by’asaobola okujjukira ku myaka gya Katikkiro Mayiga e 12, kyokka bino biri ku mwanjo nnyo mu birowoozo bya buli muntu; Ensonga Ssemasonga ettaano (5), ennyingo z’enkola ey’omulembe omuggya, okuzuukusa abantu ba Buganda okwekolera ku nsonga zaabwe okuyita mu nteekateeka y’ettofaali, okuzzaawo amasiro g’e Kasubi.

Katikkiro Mayiga newankubadde asoomozeddwa nnyo ab’ebigambo, omuli n’abamunyooma ng’akakwasibwa ddamula olw’emyaka gye okuba emito, tavudde ku mulamwa era asigadde akyogera entakera nti aluubirira okuzza Buganda ku ntikko.
Kaweefube wa Emmwanyi Terimba, okumaliriza ekizimbe masengere, okutandikibwawo kwa BBS Terefayina, Muteesa I Royal University okufuna Charter, Buganda okufuna amasomero ku mitendera gyonna okuviira ddala mu nnasale, pulayimale, siniya, amatendekero ne Yunivasite. Okuzimba amalwaliro ag’Obwakabaka, bannamikago b’Obwakabaka okweyongera n’endagaano ezikolebwa okulaba nti embeera z’abantu mu Buganda zisitulwa.
Obwakabaka bukyazizza abagenyi ab’enkizo nga Omulangira w’e Bungereza Edward ow’e Edinburgh, eyaliko Pulezidenti wa Nigeria Jonathan Goodluck, abakulembeze ab’ennono abawano n’abava ebweru, Asante Hene okuva e Ghana, abava Eswatini n’abalala, Abakulembeze b’eddini omuli n’omugenzi Paapa Francis.
Obumu mu bantu ba Buganda omuli okwaniriza abantu ab’amawanga ag’enjawulo, bannabyabufuzi aba langi ez’enjawulo, abalina eddiini ezenjawulo n’abalala. Abantu ba Buganda okweggatta okuwagira n’okwetaba mu nteekateeka z’Obwakabaka ez’enjawulo, emikolo gya Kabaka, egy’Obwakabaka, enkola ya Luwalo Lwaffe n’ebirala.
Kamalabyonna Mayiga alaze obumalirivu okuyita mu miyaga egitali gimu omuli n’ebiseera nga Kabaka mukosefu, ebigambo bye mu kwogera kwe okwenjawulo bikutte bangi ku mitima, era ennyimba n’obubaka obumwebaza bangi babimuweereza entakera.
Tukuyozaayoza nnyo Katikkiro Charles Peter Mayiga.