Emyaka 25 egya Stena Schools: Katikkiro Mayiga avumiridde abakonzibya enkulaakulana nga beekwasa abafuzi b’amatwale

Amawulire Mar 25, 2026
Share This

Bya Miiro Shafik

Makindye – Lukuli

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akubirizza abakulembeze mu Africa okwewala okwekwasa ebyakolebwa abafuzi b’amatwale eri amawanga ga Africa nti bye biremesezza enkulaakulana, ono abasabye bateme empenda ku ngeri ey’okulaakulanya n’okukyusa embeera z’abo be bakulembera naddala nga basoosowoza ebyenjigiriza nga amawanga agakulaakulanye bwegaze gakola.

Katikkiro Mayiga bino abyogeredde ku masomero ga Stena Schools ku mukolo kwe bajaguliza emyaka 25 gye bamaze nga babangula abaana b’eggwanga.Stena Hill Secondary School lyatandikibwa mu 2000, nga lino lisomesa abaana okuva mu siniya esooka okutuuka ku y’omukaaga, kyokka mu 2022 essomero lyatandikawo n’oludda olw’abaana abato mu nnasale ne Pulayimale era gonna gasangibwa Lukuli, Nanganda – Makindye.

Katikkiro Charles Peter Mayiga asinzidde eno n’avumirira eky’abantu abakyekwasa abafuzi b’amatwale nti ebyo bye baakola bye bikuumidde Africa emabega.

“Mu Africa twefuga okuva mu mikono gy’abafuzi b’amatwale, naye n’okutuuka leero tukyalina abantu abakukkuluma n’okwekkokkola abafuzi b’amatwale buli budde, abantu ba byekwaso tebasobola kutema mpenda zibavvuunusa bizibu buli kiseera abeera anonya bya kwekwasa. Eky’amazima kiri nti obufuzi bw’amatwale bwatunyunyuta naye tekiyamba okwesiba kw’ekyo, tulina kwekwata byanjigiriza bituyambe okutegeera ensi nga bw’efaanana olwo tutuuke ku bununuzi obwa nnamaddala” Mayiga.

Owek. Mayiga agamba nti ebyenjigiriza by’ebisobola okununula Africa okuva eri ebizibu ebisinga okugisumbuwa by’agambye nti biri bisatu; obutamanya, obwavu n’endwadde. Ategeezezza nti bino biremesezza nnyo amawanga ga Africa okukula kyokka nga eky’ayamba abafuzi b’amatwale okwefunza Africa ne Asia kwe kuba nti baali bayigirize ne bakozesa ssaayansi ne tekinologiya okukola ebyuma nga emmundu bye beyambisa mu kuwamba amatwale. Wano w’asinzidde n’asaba buli muntu okufaayo ku byenjigiriza nga bwe kikoleddwa mu mawanga ga Asia era nga kati Ensi zaayo zitandise okuvuganya mu by’enkulaakulana n’ezabazungu.

Katikkiro Mayiga wano yebazizza abantu abasoosowaza ebyenjigiriza nga abatandisi b’amasomero ga Stena, era abeebazizza olw’okugunjula abaana b’eggwanga emyaka 25, ng’akikaatiriza nti okutandika ekintu ssi kyangu, wabula okukiymirizaawo ebbanga nakyo kisoomooza nnyo, bw’atyo asabye abakulembera essomero okwongera amaanyi mu kuggusa okwolesebwa kwabwe okw’okukulaakulanya essomero ate n’okuyitimusa ebyenjigiriza.

Owoomumbuga ayozaayozezza essomero lino okuyisa obulungi abayizi mu bigezo ebyakaggwa era akwasizza abayizi abamu kw’abo abaasinga amabaluwa gaabwe era n’abaagaliza okusoma obulungi ku mutendera oguddako.

Omukolo guno gutandise na kusaba n’okwebaza Katonda olw’ebirungi by’akoledde essomero lino, era Omulabirizi omubeezi w’obulabirizi bwa Kampala Rt. Rev Hannington Mutebi y’akulembeddemu okusaba, ono ajjukiza abantu okumanya wa gye bavudde nga awadde ekyokulabirako ekya bannabyabufuzi abamu abakubwa mu kalulu ne batuuka n’okujjako bye bakolera abalonzi, kino akivumiridde ng’agamba omuntu amanyi gye yava asiima ebyo Katonda by’amuwadde, ate bw’akola atyo ne Katonda n’amwongera.

Omulabirizi Mutebi wano yebazizza amasomero ga Stena okutuuka ku buwanguuzi bw’emyaka 25 era ne yebaza n’Obwakabaka bwa Buganda okukwasizaako abayizi abazze balisomeramu nga bubasasulira ku bisale.

Ssaabawolerereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika alambuludde gyenvudde w’amasomero ge gano aga Stena okutuusa kati ng’agamb nti kabonero ka buwanguzi olw’okuba nga kati gali ku mutindo ogwagulu ddala ate nga bakyayongera okugasitula. Ono yebazizza abazadde ababawadde abaana lino lyonna, Obukulembeze bw’Obwakabaka n’obwa Gavumenti ya wakati obubawaniridde ekiseera kyonna mu kubalungamya n’obuwagizi obulala.

Mujuzi Frobisher Bwanika omu ku baddukanya amasomero ga Stena Hiil Secondary School ne Stena Junior School ategeezezza Katikkiro nga bwe bakyagendera ddala mu maaso n’okussa amasomero gano mu mutindo nga kw’otadde n’okugunjula abaana b’eggwanga ne mu byenjigiriza basobole okubeera ab’omutindo ogwawaggulu ennyo. Ono ayanjudde enteekateeka nnamutayiika gye balina okukulaakulanya essomero lino omwaka 2030 we gunaatuukira nga bongedde ku bizimbe eby’omutindo olwo bongere okuwa abayizi baabwe ekisinga.

Joanita Namukasa naye omu ku buddukanya essomero lino era nga ye mukulu w’essomero eyasookera ddala, yebazizza abantu bonna ababaddewo mu lugendo lwa Stena okutuuka kati ku myaka 25, abayizi, abasomesa, abakozi ku mitendera egy’enjawulo, abantu b’ekitundu, abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo, Bannaddiini na buli kinnoomu abadde nabo okutuuka ku kkula lino.

Ku mukolo guno, Katikkiro agguddewo ebizimbe bibiri (2) ekisomerwamu abayizi ekyatuumiddwa Dr. Florence Bwanika, ekisulwamu abayizi ekyatuumiddwa Tusuubira Building, atongozza enteekateeka nnamutayiika ey’okukulaakulanya essomero lino n’akwasa n’ebirabo abamu ku bantu abasiimiddwa ababaddewo ennyo mu lugendo ow’emyaka 25.

Essomero lino lyatandikibwawo mu mwaka gwa 2000 ayali mukyala wa Ssaabawolereza Christopher Bwanika, ng’ono ye Dr. Florence Nsubuga Bwanika omugenzi kati. Owek. Bwanika agamba nti ono yali musaale nnyo okukulaakulanya essomero lino era nga baatandika n’abaana batono nga kati bakuze era beebaza Katonda.

Omukolo guno gwetabiddwako Omulangira David Kintu Wasajja, Minisita Joseph Kawuki, Minisita Choltilda Nakate Kikomeko, Minisita Amisi Kakomo, Kaggo Hajj Ahmed Magandaazi Matovu, Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, abazadde, abayizi abaasomerako wano n’abaliwo n’abantu abalala bangi.

LANGUAGE