
Bya Miiro Shafik
Mende – Busiro
Omulangira Kassim Nakibinge asabye Gavumenti okukola enguudo naddala mu byalo okusobola okumbula enkulaakulana.Omulangira Nakibinge asinzidde Mende ku bijajuzo eby’emyaka 40 egy’essomero li Mende Kalema Memorial SSS.
“Ekkubo erijja ku ssomero lino ndabye balirimye, naye tusaba abavunanyizibwa bayiwe ne koolaasi, enguudo bwezibeera ennungi n’enkulaakulana mu kitundu yetongera” Omulangira Nakibinge.
Dr. Nakibinge yebazizza bonna abatadde ettofaali ku nkulaakulana y’essomero lino emyaka egiyise 40 naddala abazadde abaawayo abaana baabwe okubangulwa. Akubirizza abayizi okuteekayo omwoyo ku bibasomesebwa basobole okufuuka ab’omugaso mu biseera ebijja.

Ye Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo ategeezeza nti ekitongole okuweza emyaka 40 kiba kisajjakudde olwo nga kyolekera lugendo lwa kunnyikiza nkulaakulana bwatyo ayozaayozezza essomero lino okutuuka ku kkula lino.
Owek. Kaawaase agamba nti Obwakabaka bwenyumiriza mu ssomero lino olw’ebyafaayo byalyo, wamu n’engeri gye liyunga eddiini ku Bwakabaka bwa Buganda. Ono atenderezza n’omulimu ogukolebwa amasomero ga UMEA g’agambye nti gavuddemu abantu bangi nnyo ab’enkizo mu ggwanga.
Supreme Mufti wa Uganda Sheikh Muhammad Galabuzi yebazizza Omulangira Nakibinge olw’obuwagizi bwe eri essomero lino okusobola okukulaakulana. Asabye abatuuze okuwagira enkulaakulana ereetebwa mu kitundu kyabwe, bakkirize essomero okugaziwa ate baliwe n’abaana babangulwe.
Essomero lino lyabbulwa mu Ssekabaka Kalema era lirinanye amasiro ono we yaterekebwa e Mende. Kyokka ettaka kwelitudde yiika 34 lyaweebwawo Omulangira Badru Kakungulu okusobozesa enkulaakulana eno okubaawo.

Mu kujjukira emyaka 40 egy’essomero lino, watandikiddwawo enteekateeka y’okuzimba ‘Prince Badru Kakungulu Multipurpose Main Hall’ era Omulangira Nakibinge y’agitongozza.