Ensisinkano ya Katikkiro n’Omuyimbi Kabuye Ssembogga

Amawulire, Agafa e Mengo May 16, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Mmengo – Bulange

Omuyimbi Kabuye Ssembogga akiise Embuga okuloopa ekivvulu ekisoose mu myaka 47 egiyise bukya atandika okuyimba, kino kyakubaawo nga 23 Muzigo ku Serena Hotel mu Kampala.

Kabuye Ssembogga mu bigambo bye ebitonotono ayanjulidde Katikkiro ekivvulu kye era n’amusaba okubaayo mu mbeera yonna, amufisizeeyo obudde. Ono abadde musanyufu nnyo okukiika Embuga era yetikitidde ne Katikkiro amantambutambu.

Katikkiro Mayiga ayanirizza Kabuye Ssembogga n’abayimbi ne bannabitone ab’enjawulo abamuwerekeddeko era ategeezeza nti asanyuka nnyo okulaba ng’abayimbi abakulu bazzeemu okuyimba naddala nga bakola ebivvulu kubanga balina ennyimba zaayose eza ‘Class’ era n’akikaatiriza nti bano kyakulabirako eri abayimbi abato.

Ayongeddeko nti ye ayagala nnyo abayimbi kubanga ebivuga bimuwa emirembe, era annyumirwa buli kika kya nnyimba. “Nsanyuka nnyo okubeera ne bannabitone kuba omuntu bwakola ekintu kyoyagala oteekwa kubeera kumpi naye”

Kamalabyonna akubirizza abayimbi okwongera obuyiiya n’okuwa obudde eri ebitone byabwe nga babitwala ng’omulimu ddala, ategeezeza nti bangi ebitone babitwala nga eky’okusanyuka kyokka wabula guno mulimu ddala. Annyonnyodde nti okuyimba, okuwandiika ennyimba, okulufulumya, n’okuzina amazina byonna byetaagisa amagezi mangi n’olwekyo kikulu nnyo abayimbi ne bannabitone okuwaayo obudde eri kye bakola.

“Obunafu obuliwo be bannabitone okulowooza nti basanyusa busanyusa bantu, ssi bwekiri, guno mulimu, gutwala obudde naddala mu kwegezaamu ekibi nti abayimbi obudde babumalira mu bbaala. Omulimu gwomuyimbi ssi kubeera mu bbaala, olina kuyiiya nnyimba z’olina okutwala mu bbaala abatamiivu basanyuke y’ensonga lwaki abayimbi baffe bakoma mu kkubo. Kyetaaga obumalirivu okusobola okufuna mu kitone,” Katikkiro.

Katikkiro asabye abayimbi abato babeeko bye bayigira ku bayimbi abakuzeemu era abaludde mu kisaawe kubanga basobodde okukuuma omutindo okutuusa kati. Abakubirizza n’okugatta omutindo ku bye bamanyi naddala abayimbi okubaako ebivuga bye bayiga.

Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’EbitoneOwek. Robert Serwanga Ssaalongoategezeeza nti okuyimba kwa bagezi bokka era kwetaaga amagezi ag’enjawulo okusobola okugyamu ekirungi ekisanyusa abantu. Yebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okuggulawo oluggi okukkiriza abayimbi aba buli kika okukiika embuga, n’abateerawo ne Minisitule nnamba okubakumaakuma.

Meseach Ssemakula omu ku bawerekeddeko omugenyi w’embuga ategeezeza nti Ssembogga yamutuukirira n’amutegeeza nti awulira amaanyi ga mukeeye kyokka ng’asaba ebintu bibiri; okukolayo ekivvulu ekikye ku bubwe, n’okukiikako Embuga. Ono bwatyo yeebaziza Katikkiro okubawa omukisa, okuyaayana kwa Ssembogga okusoose ne kutuukirira ate nga bwe balinda n’ekivvulu. Ono Asiimye nnyo n’okuba nti Obwakabaka busoosoowaza nnyo ensonga za Bannabitone.

Ssembogga awerekeddwako abantu abawerera ddala okuli; Ronald Mayinja, Fred Ssebbaale, Carol Nantongo, Bruno K, Mary Bata, omutegesi w’ekivvulu kye Balunywa, ba TikTokers n’abalala.

LANGUAGE