Ettaka ly’Amasiro Teritundibwa – Ssaabalangira Musanje

Agafa e Mengo Jan 18, 2025
Share This

Bya Ssemakula John

Bukesa – Kyaddondo

Ssaabalangira wa Buganda Godfrey Musanje Kikulwe yekokkodde bannakigwanyizi abasusse okutunda ettaka ly’Amasiro, n’alabula nti singa omuze guno tegukoma ab’oluyo olulangira bandibulwa ensibuko.

Okwogera bino asinzidde mu Kigango kya Ssaabalangira e Bukesa Namirembe mu, Ssaza Kyaddondo bw’abadde yeetabye mu kumanyagana ssaako ne ttabamiruka w’abavubuka abeegattira mu kibiina ‘Olulyo Olulangira Youth Network’ nga bano balayiza n’obukulembeze bwabwe ku Lwomukaaga.

Ssaabalangira Musanje abavubuka abafalaasidde okukomya okwekubagiza wabula basitukiremu okukola emirimu egiyingiza ensimbi awatali kunyooma mulimu gwonna olwo lwe bajja okusobola okukyusa embeera zaabwe.

Omuyima w’Abavubuka mu lulyo Olulangira, Omulangira Golooba Wilberforce asinzidde wano naakuutira abalangira n’Abambejja okwewala ebyo ebiyinza okutyobola ekitiibwa kya Abalangira era abasabye bafube okukola emirimu baleme kudda mu kweggaggasa mu mbeera yonna.

Ssentebe w’Abavubuka mu lulyo Olulangira Omulangira Tebandeke Kenneth asabye abavubuka okwettanira ebifo by’obukulembeze mu Ggwanga okusobola okusaka omugabo gwabwe ate nabo okugatta ettofaali ku Ggwanga lyabwe.

Omuk. Ssali Damascus awadde omusomo eri abavubuka bano naabasaba okunyweza obumu n’okukolera awamu ate nga buli kye basalawo okukola bakiteekako ekigendererwa ekitegeerekeka era ekisobola okuggusibwa. Abasabye obutatandika bintu ne babireka mu kkubo.

Omulangira Zzimbe Zefania omwogezi w’olukiiko Ttabamiruka olw’Abavubuka mu Buganda naye eyeetabye ku mukolo guno, naakunga abavubuka okudda mu bika byabwe okuweereza okusobola okunyweza ennono n’empisa za Buganda.

Omukolo guno gwetabiddwako Abalangira, n’Abambejja, ba Ssaava ne ba Nnaava n’abantu abalala.

LANGUAGE