Kabaka Asiimye musaayi muto Dominic Luther Mubiru

Amawulire May 20, 2025
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Ssaabasajja Kabaka asiimye musaayi muto Dominic Luther Mubiru, eyamuwandiikira ebbaluwa emuyozaayoza okutuuka ku mazaalibwa ag’e myaka 70.

Musaayi muto ono wa myaka etaano, yakozesa ssente emmese ze yamuwa nga akudde erinnyo erisooka n’agula firimbi n’ekigendererwa ekya okugitonera Ssaabasajja Kabaka agikozese mu kujjukiza abantu be obutabongoota.

Nga amaze okugula firimbi, omwana ono Dominic Luther Mubiru, yatuula wansi n’awandiikira Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II e bbaluwa e mukulisa okutuuka ku mazaalibwa ag’e myaka 70 n’atungako firimbi n’abiweereza Kabaka.

Obubaka bwa Dominic Luther Mubiru bwasanyudde nnyo Ssaabasajja Kabaka bw’atyo naye n’amuwandiikira e bbaluwa eraga okusiima olw’ekirabo kya firimbi.

Ssaabasajja Kabaka yebazizza bazadde ba Dominic Luther Mubiru olw’okumulabirira obulungi ate ne bamutwala kusomero ayige okuwandiika. Omutanda yebazizza abasomesa ba St. Franciscan Angles day care and kindergarten e kiteezi omuyizi ono gy’asomera, olw’okumuyigiriza okusoma n’okuwandiika obulungi obwenkanidde awo.

Ebbaluwa ya Dominic Mubiru emukwasiddwa omuwandiisi wa Kabaka ow’ekyama Omuk. DD. Mukiibi mu kakkalabizo lye ku Bulange e Mmengo.

Dominic Luther Mubiru, azaalibwa omwami Kizza Godfrey ne Maama Nakalyango Justine. Mu kiseera kino Mubiru abeera ne Jjajjaawe Oweek Henry Kanyike n’Omukyala Florence Kanyike e Kiteezi olw’abazadde okukolera emirimu gy’abwe e bweru wa Uganda.

LANGUAGE