#KabakaMutebiAt70 | Lutikko ye Lubaga ewuumyenha bajaguza Emyaka 70 egya Beene

Amawulire Apr 13, 2025
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Lubaga – Kyaddondo

Lutikko y’ e Lubaga ewuumye nga abakkiriza okuva mu nsonda za Buganda ez’ enjawulo bwebabadde bakung’aanye okwebaza Katonda olwa Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II okuweza emyaka 70 egy’ ekitiibwa.

Bano  bawonze Beene mu mikono gya Katonda ayongere okumukuuma era amuwangaaze era amuwe obulamu obulungi.

Omutambizi omukulu era Ssaabasumba we ssazza ekkulu erya  Kampala Paul Ssemwogerere okuyigirisa kwe ebadde saala gyasabye Katonda alung’amye obukulembeze bwa Ssaabasajja kuba abantu babwenyumirizaamu kwosa nabantu bonna abamukwasizako babe beesigwa gyali era Katonda amuwangaaze.

Ssaabasumba ateegezezza abakkiriza nti olusozi Lubaga lwa byafaayo nnyo mu Buganda nga Ssekabaka Muteesa I weyasinziira okwaniriza Abamisaani abaleeta eddiini zonna ate naye Kabaka Muteebi II  nga kati afuga mu ntebe yaba Jjaajja be ayagadde eddiini zonna kwosa n’okuzisaamu ekitiibwa wamu n’okukiriza okujaguliza amazaalibwa ge ku Lutikko e Lubaga. 

Ssaabasumba Ssemwogerere anyonyodde nti okujaguza amazaalibwa ga Ssaabasajja age myaka 70 kitegeeza okusanyukira mu Kabaka ekisikirize kya Katonda ku nsi nga amanya ge agamu nga Nnyininsi kye gategeeza. 

Ono agaseeko nti buli Obuganda lwebusanyukira mu  Kabaka kuba kunyweza obumu kuba awatali Buganda tewali Uganda era anafuya Uganda atandikira ku Buganda kuba mwemwasimbibwa omusingi gwe by’obufuzi bye ggwanga naye eky’omukisa ekiriwo Obwakabaka abaganda bubali mu musaayi.

Ssaabasumba Ssemwogerere akakasizza nti obuwanguzi bwa Ssaabasajja bwa ssanyu nnyo eri ensi kuba waliwo akaseera akaali akazibu ennyo mu bulamu bwe naye abakyamu basiirisibwa era wano yebaziza nnyo Katonda olwokuza Maaso mooji nayongera okulembera Obuganda.

Omutambizi Ssemwogerere yeebazizza nnyo Kabaka olw’enkola yebyempuliziganya zonna zasizaawo, amasomero ebibiina bye nkukakulana kwossa ne Ttulakita zeyakasembyeyo okugabira abantu be. Awunzize amusibirira ekyawandikibwa kya Zabbuli 139:14.

Bw’ abadde ayogera,  Katikkiro Charles Peter Mayiga yeebazizza nnyo abantu be olw’okumusabiranga ebbanga lyonna natebuka ebimusomooza kwossa n’okwebaza abasawo abakuno n’ebweru wa Uganda okumujjanjaba nga kati enjawulo ku bulamu bwe weeri.

Owek. Mayiga ateegezezza nti olunaku luno lwabyafaayo nnyo kuba lugatta abantu kuba Buganda eyise mu biwenda 3 nga Nnamulondo terina Kabaka okuli kumulembe gwa Chwa Nabakka omuze, ku mulembe gwa Ssekabaka Mwanga II awamu neku Muteesa II, Obwakabaka lwebwaggyibwawo Obote nebusigala mu mitima gy’ Abaganda.

Kamalabyonna annyonyodde nti Kabaka ke kabonero era ekitikkiro kyebyo byebakiririzamu era emyaka 70 kye giraga okukkakata kwa Nnyini nsi. 

Ono alaze emiramwa egitambulizidwa ku mazzalibwa ga Kabaka gano okuli okusosoowaza ebyobulamu, ebyenjigiriza wamu n’ebyobulimi nga byonna byagendererwamu okulakulanya abantu mu Buganda.

Asabye abantu okunyweza obumu nga basaba Katonda okuwangaaza Beene batuuke n’okumuwalulira ku Kaliba.

Nnyinimu Ssaabasajja asiimye naatonera Lutikko ye Lubaga oluggi lwa wankanki w’ ennyumba y’ Abaseeseredooti eri mukuzimbibwa ku Kasozi kano era obubaka abutisse Omulangira David Namugala.

Okusaba kuno kwetabidwako ebikonge ebyenjawulo okuli  Nnaabagereka Sylivia Nagginda, Bannalinnya, Abalangira n’ Abambejja, kkabineeti y’ Obwakabaka, Abataka Abakulu ab’ Obusolya, Bakatikkiro abawummula, abakulembeze b’ eddiini ezenjawulo, ababaka ba Palamenti kwosa nabagenyi abalala.

LANGUAGE