
Bya Pauline Nanyonjo
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga atongozza emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka og’omulundi ogwe 12 naakubirizza Gavumenti okusoosowaza kaweefube w’okulwanyisa ekirwadde ki Mukenenya.
Omukolo gw’okutongoza guyindidde mu bimuli bya Bulange ku Lwokusatu era gwetabiddwako abakungu ne bannamukago ab’enjawulo.
“Bwetuba nti mu bantu abali mu nsi yonna buli bana abalina mukenenya bali mu Uganda ekyo kyabulabe, ku buwumbi n’obuwumbi obuli mu nsi yonna. Nsaba Gavumenti ekekkereze ssente eziteeke mu by’obulamu naye nga esoosowaza okulwanyisa Mukenenya,” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.
Katikkiro azzeemu okujjukiza abasajja nti Kabaka yasiima babeere basaale mu kulwanyisa obulwadde buno, kyokka n’alabula n’abakyala bakaggwensonyi abeekwanira abasajja, awatali kutya bulwadde. Bwatyo akuutidde abantu okwekuuma ennyo, abatasobola bambale era beekebeze.
Owek. Mayiga yeebazizza Bannamukago bonna abavuddeyo okuwagira enteekateeka z’emisinde, egiruubirira okukola ku byobulamu, okugatta abantu ba Kabaka, n’okukuuma Emibiri nga gikola bulungi.

Ssentebe w’olukiiko olukumbeddemu enteekateeka z’emisinde gy’omwaka guno era Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo ategeezezza nti emisinde gy’omwaka guno gya nkizo nnyo nti kubanga Ssaabasajja Kabaka aweza emyaka 70.
Owek. Kaawaase agamba nti abaddusi baakubeera bangi ddala n’Olubiri lubooge olw’ekkula lino. Ono akoowoodde Bannaddiini, Bannabyabufuzi, Amasomero, Ebitongole n’abantu kinnoomu okugula emijoozi mu budde.
Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone Owek. Robert Serwanga Ssaalongo ategeezeza nti baakufuba okulaba nti emisinde gitegekerwa ku mutindo ogw’Ensi yonna, era agamba nti gigenda kubeera minyuvu nnyo, bwatyo naye asabye abantu okufuna emijoozi mu budde kubanga gyakuggwaawo mangu ku katale.

Omukungu wa UNAIDS Dr. Sarah Nakku ategeezezza nti ku buli bantu 100 abalina mukenenya mu Nsi yonna, 4 ku bbo Bannayuganda ekireetaawo okwennyamira.
Ono alaze okutya nti America okuggya enta mu kuvujjirira okulwanyisa mukenenya kyandiviirako obulwadde buno okweyongera kyokka n’asaba Bannayuganda okwongera okwekuuma
Abavujjirizi abakulu aba Airtel nga bakiikiriddwa Omuky. Flavia Ntambi beeyamye okwongera okuvujirira emisinde gino okutuusa nga mukenenya aweddewo mu Uganda
Emisinde gy’amazalibwa ga kabaka omwaka guno gyakubaawo nga 06/04/2025 era emijoozi gisigaddeyo ku mitwalo ebiri (20,000/=).