Kabineeti ya Ssaabasajja Kabaka ekola ki?

Amawulire Jan 29, 2026
Share This

Bya Miiro Shafik

Obwakabaka bwa Buganda mu ntambuza yaabwo ey’emirimu bwesigama ku bukulembeze obulondebwa Ssaabasajja Kabaka era Omwami we omukulu aweebwa ekitiibwa kya ‘Katikkiro’ ng’ono alamulirako Kabaka Obuganda era y’akubiriza enkiiko za Kabineeti.

Obwakabaka bwa Buganda butudde ku masiga asatu; Olulyo Olulangira, Abataka, Abaami. Mu ssiga ly’Obwami mwe mugwa olukiiko lwa Kabineeti era osobola okugamba nti lwe lukiiko olwo ku ntikko ku mutendera guno kubanga lukubirizibwa Katikkiro, Omwami wa Kabaka omukulu mu ssiga ly’Obwami.

Essiga lino ery’Obwami mwe mugwa; Katikkiro, Baminisita, Abakiise mu Lukiiko lwa Buganda, Abaami b’Amasaza n’obukulembeze bwonna nga bwe bugenda okutuukira ddala ku kyalo ewali abatongole. Mulimu n’abakulira ebitongole by’Obwakabaka ebyenjawulo. Emitendera gino gyonna gikolera mu lujegere, anti obubaka, emirimu n’obuweereza biva waggulu okudda wansi ate ne biva ne wansi okudda waggulu.

Olukiiko lwa Kabineeti lwe tutegedde obulungi nti lukubirizibwa Katikkiro lutuulamu Abamyuka be, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda n’Omumyuka we, Baminisita ba Kabaka n’omuwandiisi w’Olukiiko luno era Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu woofiisi ya Katikkiro.

Mu kiseera kino olukiiko olwasembayo okulangirirwa nga 1 Muwakanya 2023 luliko bantu 15; Owek. Charles Peter Mayiga – Katikkiro, Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo – Omumyuka Asooka owa Katikkiro era Minisita avunanyizibwa ku nzirukanya Y’emirimu ne Tekinologiya, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa – Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda avunanyizibwa ku byensimbi, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule – Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Ahmed Lwasa- Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Christopher Bwanika – Ssaabawolereza wa Buganda, Owek. Daudi Mpanga – Minisita w’Ettaka n’Ebizimbe, Owek. Joseph Kawuki- Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Okulambula kwa Ssaabasajja n’ensonga z’Ebweru wa Buganda, Owek. Noah Kiyimba – Minisita wa Kabineeti, Olukiiko, Abagenyi n’ensonga ez’enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro, Owek. Hajj Amisi Kakomo- Minisita w’Obulimi, Obusuubuzi, Obweggasi, Obulunzi n’Obuvubi, Owek. Mariam Nkalubo Mayanja – Minisita wa Bulungibwansi, Obutondebwensi, Amazzi n’Ekikula ky’Abantu, Owek. Israel Kazibwe Kitooke – Minisita w’Amawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Anthony Wamala – Minisita w’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambuzi n’Ebyokwerinda, Owek. Choltilda Nakate Kikomeko – Minisita w’Enkulaakulana y’abantu ne woofiisi ya Nnaabagereka ne Owek. Robert Serwanga Ssaalongo – Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone. Omuk. Josephine Nantege Ssemanda tali ku lukiiko lwa Kabineeti kyokka mu ntuula zaayo atulamu nga Omuwandiisi era ye Muwandiisi ow’enkalakkalira mu woofiisi ya Katikkiro.

EMIRIMU GYA KABINEETI YA KABAKA.

Katikkiro ng’Omwami wa Kabaka omukulu era alamulirako Kabaka Obuganda, avunanyizibwa ku mirimu gyonna egikolebwa mu Buganda, okufuna okulambikibwa kwa Kabaka n’akutuusa ku bantu ba Kabaka bonna ate n’okuzzaayo obubaka eri Nnyinimu. Bino osobola okubifunza mu okukumaakuma Obuganda okwebungulula Nnamulondo.

Abakiise abalala ku lukiiko lwa Kabineeti luno emirimu gyabwe gitambulira ku buvunanyizibwa obubaweebwa okugeza mu byobulimi, ebyenjigiriza, Gavumenti ez’Ebitundu, Tekinologiya, Okukubiriza Olukiiko lwa Buganda, Ebyemizannyo n’emirala. Buli omu atuukiriza obuvunanyizibwa obujjira ku kifo ekimukwasibwa Beene.

Kabineeti ya Kabaka kyokka etuula okukuba ttooci mu mirimu gyonna egikolebwa mu Bwakabaka, okulaba ebirina okukolebwa, ebituukiriziddwa, ebitanaba n’okutema empenda ku byonna ebigenda mu maaso mu Bwakabaka.Nga bwe twalabye nti ebikolebwa byonna bya lujegere, Baminisita bano kinnoomu nabo entambuza yaabwe ey’emirimu ekubwamu ttooci obukiiko obw’enjawulo obw’Olukiiko lwa Buganda okulaba nti ebiruubirirwa by’Obwakabaka biggusibwa.

Mu Minisitule ez’enjawulo ne mu woofiisi ez’enjawulo mu mugwa ebitongole by’Obwakabaka, olukiiko lwa Buganda, okukwanaganya essiga ly’Abataka, Gavumenti ez’Ebitundu n’ebirala. Ebisalibwawo Kabineeti bwe bituusibwa ewa Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka n’abisiima olwo nga biteekebwa mu nkola nga bwe tulabye; okuzimba amalwaliro, amasomero g’Obwabakabaka, okutumbula ekirime ky’emmwanyi, emirimu mu bavubuka, Ebyemizannyo n’enteekateeka z’Obwabakabaka ez’enjawulo.

Kabineeti ya Kabaka ensangi zino etuula Lwakuna nga wabukiddwawo ssabbiiti emu era wenkoledde eggulire lino nga ettudde omulundi gwayo ogusoose mu 2026.

LANGUAGE