Katikkiro akubirizza abantu okwongera okugemesa abaana baabwe

Eby'Obulamu Feb 05, 2025
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Bulange – Mmengo

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye abazadde bulijjo okutwala abaana babwe bagemebwe endwadde zinamutta awamu n’omusujja gw’ ensiri basobole obutatawaanyizibwa ndwadde era bafune obulamu obulungi.

Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuwadde ali mukafubo n’abavunaanyizibwa ku by’obulamu mu Bwakabaka e Bulange e Mmengo ku Lwokusatu.

Katikkiro agamba nti amaka agasinga obungi gakosebwa endwadde naye omusujja gw’ensiri guli waggulu nnyo mu kutta abantu naasaba okugwerinda.

Ono annyonnyodde nti bweguzinda famire gukosa ebyenfuna kubanga gumalawo ensimbi nnyingi mu gujjanjaba ate nga gutta nnyo abantu okusinga ne mukenenya.

Owek. Mayiga  akunze abazadde okutwala abaana bagemebwe okuva ku myezi 6 okutuuka ku myaka 2 kubanga eddagala erigema lyatuuse mu malwaliro era nga lino lyamaze kukakasibwa ekitongole ky’amawanga amagatte ekikola ku by’obulamu ki World health organization nga teririna bulabe bwonna.

Katikkiro akinogaanyizza nti obwakabaka busoosowaza eby’obulamu kubanga olugendo lw’okuzza Buganda ku ntikko lwetaaga abantu nga balamu.

LANGUAGE