
Bya Miiro Shafik
Mmengo Bulange
Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye Abaami b’Amasaza n’Abamyuka baabwe mu lukiiko olutuuziddwa mu Bulange e Mmengo.
Kattikiro wa Buganda asinzidde wano n’akubiriza abaami ba Kabaka ku mitendera gyonna okugoberera ennambika ezibaweebwa gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka mu byonna bye bakola nga batuukiriza obuvunaanyizibwa obwabaweebwa.
“Ebirowoozo tulina bingi, naye buli omu tasobola kuteeka mu nkola ye kirowoozo ky’ayagala, tulina okubeera n’ennambika, oli yaŋŋamba nti tulime pamba ne mugamba nti naye mulungi naye katusooke emmwanyi bwezinaamala okunnyikira tunaatunuulira n’ebirime ebirala” Katikkiro Mayiga.

Kamalabyonna wa Buganda yebazizza Abaami b’Amasaza olw’emirimu gye bakola mu bantu ba Kabaka, kyokka abakuutidde okwongera okubukaza obukulembeze ku mitendera gyonna okuviira ddala ku byalo, emiruka, eggombolola okutuuka ku ssaza. Abasabye okunyweza obumu ne be bakola nabo emirimu, okugabana emirimu gireme kwetuuma ku muntu omu, n’obuyiiya okukola ebyo ebivaamu ssente okuvujjirira emirimu gye bakola.
Owek. Mayiga alabudde Abaami b’Amasaza ku biseera by’ebyobufuzi Eggwanga mweriri, n’abasaba okubeera abegendereza obutakuutira muntu yenna kadingidi wadde okubaako gwe bakotoggera wabula banirize buli awatali kusosola mu bibiina oba langi wabula batunuulire n’eriiso gyogi abo abategeera ekitiibwa Kya Kabaka.
Owoomumbuga afalaasidde Abaamasaza okulongoosa Embuga zaabwe zirabike bulungi, bongere n’okukubiriza abantu okujjumbira enteekateeka y’Oluwalo nga bajjukira nti Buganda ku ntikko si ŋŋombo wabula nteekateeka ya kusitula Buganda n’abantu baayo okulongoosa embeera z’obulamu bwabwe.
Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu mu Buganda Owek. Joseph Kawuki asinzidde mu lukiiko luno n’ayanjulira Katikkiro ebimu kw’ebyo ebituukiddwako mu mwaka ogumu oguyise okuva lwe yakoma okusisinkana Abaami bano era ategeezeza nti waliwo okugenda mu maaso mu nkola y’emirimu era Abaami b’Amasaza bakolagana bulungi, waliwo n’abantu abaalondebwa; Abalezi n’Abaseesa mu buli Ssaza abayambako Abaami b’Amasaza okutambuza obulungi emirimu. Ategeezezza nti Abaami ab’Amasaza bonna Obwakabaka bwabawadde yinsuwa z’obulamu.
Minisita Kawuki akubirizza Abaami ba Kabaka okwongera okunyweza obumu, okulamula be batwala n’okufuba okulaba Federo ey’ebikolwa eyongera okuggumira.
Ensisinkano eno yetabiddwamu Abaami b’Amasaza okuva mu Masaza ga Buganda gonna 18 n’amalala agali ebweru wa Buganda.
