
Bya Samuel Stuart Jjingo
Lugogo – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abantu okweyuna emirimu gy’ emikono era bakozese obuyiiya bafune emirimu ne ssente.
Obubaka buno abutise Minisita w’Obulimi, Obwegassi, Obusuubuzi n’Obuvubi Oweek. Hajji Amisi Kakomo mu bijaguzo by’Olunaku lw’Abatunzi mu nsi yonna okutegekeddwa ekibiina ekitwaala abattunzi mu ggwanga, Uganda Tailors Association ku UMA Show Grounds e Lugogo ku Lwokutaano.
Katikkiro abakubiriza okwekumakuma begattire mu bibiina by’obwegassi kibayambeko okufuna akatale akalungi awamu n’okwewola ssente ku magoba amasaamusaamu.

Owek. Mayiga abategeezezza nti Obwakabaka buwagira enteekateeka eno ey’okukozesa obwongo n’emikono nga erambikiddwa ne mu Nnamutayiika y’Obwakabaka n’olwekyo babasubiza obuwagizi b’Obwakabaka mu ntambuza y’emirimu gyabwe.
Minisita Kakomo alambudde emiddaala egy’enjawulo egitegekeddwa abattunzi b’engoye nga boleesa obukugu bwabwe.
Ebikujjuko bino byetabiddwako Omumyuka wa RDC we Namisindwa Muky. Josephine Ibaseret, Ssentebe w’Abatunzi mu ggwanga Mw. Phillip Ssekimpi Kakembo n’amasomero ag’enjawulo.
