
Bya Pauline Nanyonjo
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubiriza abantu abakiise mu luwalo okuva e Bulemeezi ne Buddu okwetaba obutereevu mu nteekateeka z’Amazaalibwa ga Beene ag’emyaka 70 eyafulumiziddwa eggulo.
Mu bino kuliko; Omutanda okuggulawo ekizimbe ekituumiddwa Kabaka Ronald Mutebi II ku St. Peter’ SS e Bombo Kalule, okuggulawo eddwaliro ky’Obwakabaka Ssingo, okuwa abami ba Kabaka zi Ttulakita, okudduka emisinde gya Kabaka awamu n’okusabira Nnyinimu mu masinzizo ag’enjawulo nga 13/04/2025.
Obubaka bwa Katikkiro buno bwetikidwa minisita w’ Amawulire n’Okukuunga abantu era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek Israel Kazibwe bwabadde atikkula Oluwalo ku Lwokubiri.
Owek. Mayiga abasabye okwongera okulwanyisa ekirwadde kya mukenenya naddala mu bavubuka n’abaana abato olwo ebiseera bya Buganda eby’omumaaso bibeere bitangaavu.
Ku nsonga y’ebigimusa ebicupule ku katale, Katikkiro agumizza abalimi bonna era nabategeza nti Obwakabaka bwatongoza era nebufulumya ekigimusa ky’ebirime byonna wamu ne banamukago aba Grain Pulse Limited naabasaba okukyettanira baleme kufiirizibwa.
Minisita wa Gavumenti z’ Ebitundu, Owek. Joseph Kawuki naye asabye abakiise okujjumbira enteekateeka z’Amazalibwa ga Kabaka naddala emisinde gya mazalibwa egibindabinda.
Ku nkola ya “Tondeka mu Luwalo” eyatongozebwa gye buvuddeko minisita Kawuki asabye Abaami ba Kabaka okwongera okugigoberera naddala eyo eva embuga olwo luwalo lwaffe 2025 lwenabanguyira.
Omumyuka owookubiri owa Pookino, Haji Siraje Ssesazi ategeezezza Kamalabyonna nti ebigimusa ebicupule Bannabuddu byebagula bibazizza emabega era awo wasinzidde okusaba wasibwewo edduuka ku mbuga ya Pookino kwe banagulanga ebigimusa eby’omulembe.
Ye omubaka omukyala owa Kalungu, Omuky. Aisha Ssekindi asabye Bannayuganda bonna okwenyigira mu nkola zonna ezitaasa obutondebwensi nga balwanyisa ebyo byonna ebitatana obutonde kitaase eggwanga ku kyeeya ekiyinza okulirumba akadde konna.
Ssekindi ayongedde okwebaza Obwakabaka olw’okukiriza nebuta omukago neminisitule gyatwala ey’obutonde bwensi okusobola okunyikira okukuuma obutonde bwayo.

Ensimbi eziwerera ddala obukadde abiri mu mukaaga zezetikidwa Eggombolola okubadde Mutuba 15 Kirumba, Mutuba 22 Kitanda, Mutuba 21 Lwabenge wamu ne Mutuba 3 Nyibwa.
Kinajjukirwa nti Omutanda yasiima amazalibwa ge ag’emyaka 70 gatambulire ku mulamwa “Tubeere balamu nga tujumbira okwegemesa n’okwejjanjjabisa endwadde zonna”.