Katikkiro Mayiga akuutidde abantu okwemanyiiza okusoma ebitabo

Amawulire Apr 24, 2025
Share This

Bya Shafik Miiro

Bulange – Mmengo

Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abantu okwemanyiiza okusoma ebitabo kibayambe okubaako ebyenjawulo kyebayiga.

Bino Kamalabyonna Mayiga abyogedde asisinkanye Omulangira Edward Frederick Walugembe okumwanjulira ekitabo kye yawandiise mu kujjukira amazaalibwa ga Kabaka ag’emyaka 70 nga kino yakituumye ‘PATRIOTISM’ mu Bulange e Mengo.

Kamalabyonna agamba nti mu Nsi ezikyakula naddala ez’abaddugavu, abantu basaana okwewandiikira ebirowoozo ebiggyayo obulungi ekifaananyi eky’olukalu lw’omuddugavu, ategeezeza nti buli muntu awandiika awa ndowooza ye, era abazungu kyebava bawandiika nti bajja mu Africa kuleeta bugunjufu ekitali kituufu.

Annyonnyodde nti kuva ddala nga Abafirika bantu bagunjufu wabula ng’abeeru babasingako tekinologiya yekka era n’okujja mu Africa baasinga kujja kufuna ba bugagga.

“Bwe twewandiikira ebirowoozo byaffe, abaliddawo balisoma ku byafaayo okusinziira ku birowoozo byaffe, n’olwekyo kirungi abantu baffe bayige okuwandiika, ate n’okusoma tusome” Katikkiro Mayiga agamba nti abantu bangi balina ebitabo mu nju woofiisi zaabwe kyokka tebabisoma, kino akivumiridde.

Owoomumbuga agumizza abantu ku kuwandiika ebitabo, nti buli muntu wa ddembe okuwandiika okusinziira ku ndowooza ye, oyo atakkaanya naye, naye awandiike ye ky’amaanyi, olwo abasomi bagerageranye era bayige okuva mu bwino ow’emirundi egiwera. Agamba nti asanyukira nnyo abantu abawandiika ebitabo n’abo ababisoma. Bwatyo yeebaziza Omulangira Walugembe okuwandiika ekitabo ‘PATRIOTISM’ eky’ogera ku bukulu bw’omwoyo gw’Eggwanga mu kutumbula enkulaakulana y’Ensi.

“Abatamanyi bulungi kusoma bitabo, amagezi ge mbawa, kwe kutandika empola mpola olwo bamanyiire oluvannyuma lw’ekiseera, tandika n’emiko ebiri (2) olunaku ogenda ng’olinyisa omuwendo mpola mpola, obudde tuleme kubumalira ku ssimu zi seereza” Owek. Mayiga.

Omulangira Edward Frederick Walugembe ategeezeza nti ensonga enkulu eyamuwaliriza okuwandiika ekitabo kino, y’engeri abantu gye bategeeramu ekigambo mwoyo gwa ggwanga. Ono agamba nti Bannabyabufuzi baayonona ekigambo kino era abantu balowooza nti ‘PATRIOTISM’ bya Gavumenti.

Bwatyo aluubirira okwongera okusitula obumanyi ku nsonga eno, abazadde n’abasomesa n’abantu bonna basomese abaana ensonga ya mwoyo gwa ggwanga bakule nga balumirirwa bannaabwe n’Ensi yaabwe.

“Omuntu agalina mwoyo gwa ggwanga, talina ky’asobola kukola, tasobola kuweereza era talina baasobola kukulemberwa wadde okukumaakuma” Omulangira Walugembe. Ono yebazizza nnyo Katikkiro olw’okusitula mwoyo gwa ggwanga mu bantu ng’ayita mu nteekateeka nga ettofaali, Luwalo Lwaffe n’endala

LANGUAGE