Katikkiro Mayiga asabye abakulembeze okubaako byebayigira ku Paapa Francis

Amawulire Apr 22, 2025
Share This

Bya Shafik Miiro

Bulange – Mmengo

Katikkiro Charles Peter Mayiga akubiriza abakulembeze okufuna eby’okuyiga mu bulamu bwa Paapa Francis kubanga abadde mukulembeze awa abalala ekitiibwa, omwetoowaze,omutabaganya.

Owek. Mayiga okusaba kuno akukoledde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bw’ abadde atikkula Olutalo lwa bukadde 76 okuva e Buddu,Ssingo,Kyagwe ne Mawogola.

Kamalabyonna Mayiga agamba nti Paapa abadde ayagala ennyo abantu ate nga abalumirirwa naasaba abali mu bukulembeze okumulabirako.

Ono agamba nti Paapa abadde mukulembeze wanjawulo era nti bweyajja mu Uganda mu mwaka 2015 yasisinkana Ssaabasajja Kabaka ne Nnaabagereka nabawa amakula ne Kabaka naawa Paapa ebirabo kyoka yalaga obwetowaze obwekika ekya waggulu ate nga awa abantu ekitiibwa.

Mukuumaddammula era ateegezezza nti Paapa Francis nga omukulembeze w’abakatuliki abadde kyakulabirako kirungi nti abadde ayagala abantu ate nga ababeeramu, ayigiriza obutapapira nsonga nobutayunguwa kusalira balala musango nga abalala bwebakola.

Ow’omumbuga yeebazizza abantu bakabaka abakiise mbuga nasaba okusigala nga bali bumu olwo Buganda yegya okuwangula abalabe abagirima empindi ku mabega.

Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu mu Bwakabaka,  Owek. Joseph Kawuki yeebazizza abantu ba Beene okwenyigira  mu nteekateeka z’Obwakabaka nabasaba okukuuma obumu ebbanga lyonna.

Abaami n’eggombolola ezikiise Embuga bawozeza olutabaalo ewa kamalabyona n’okusoma alipoota omubadde n’omuwendo gw’oluwalo gwebaleese era omwami wa kabaka omulammulira essaza Ssingo Mukwenda Deo Kagimu yeyanziza omuteregga olwokubangawo enteekateeka ezikulaakulanya abantu be.

Oluwalo lw’omulungi guno lwetabidwako abakulembeze ku mitendera ejenjawulo era beeyamye okwongera okuwagira enteekateeka za Maasomoogi.

Ku mukoli guno, Kamalabyonna  awerekeddwako Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, owek. Joseph Kawuki minisita wa gavumenti ez’ebitundu n’entambula za Kabaka, Minisita w’amawulire okukunga era omwogezi w’obwakabaka owek. Israel Kazibwe Kitooke.

LANGUAGE