
Bya Pauline Nanyonjo
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye abakulembeze okuva mu kigo ky’Abakristu e Lweza abakuliddwamu Ssaabakristu waabwe Omw. Nsimbe Willy nebateesa ku nsonga ez’enjawulo.
Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokutaano nabakakasa nti ensi bulijjo zikula bukulembeze obulungi era obusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa.
Owek. Mayiga agamba nti Ekelezia newankubadde eryowa myoyo kyokka waliwo n’obuvunanyizibwa bw’okutuusa enkulaakulana ez’Ensi eri Abakristu omuli okuzimba amalwaliro, amasomero okusitula embeera zaabwe, kubanga omwoyo gwegazaanyiza bulungi mu mubiri omulamu.
Ow’Omumbuga bwatyo yeebaziza abakulembeze bano olw’enkulaakulana ez’enjawulo eziri e Lweza era abakubirizza okwongera okukulembeza obuvumu, obuyiiya n’obumalirivu okulaba bakwatizaako abasaseredooti mu kutuusa obuweereza ku bantu.
Abeebazizza n’olwebirabo bye baleese eri Kabaka by’anasiima bifuuke amakula, era agamba bano be basoose okuleeta ebirabo by’amakula mu bijaguzo eby’emyaka 70 egya Kabaka Mutebi II.

Ssaabakristu Nsimbe Willy ategeezeza nti bazze Embuga okusiima enkolagana gye balina n’Obwakabaka bwa Buganda, okusisinkana mukulisitu munnaabwe Katikkiro Charles Peter Mayiga okumwebaza olw’ebirungi by’akolera ekigo, Obuganda ne Uganda yonna.
Omw. Nsimbe era annyonnyodde nti baayagadde okusaka amagezi ag’obukulembeze gabongere embavu mu buweereza bwabwe.
Ensisinkano eno yetabiddwamu Minisita Noah Kiyimba n’abakulembeze b’Abakristu mu kigo ky’e Lweza.