Katikkiro Mayiga Atongozza Luwalo Lwaffe 2026, Akubirizza Obuganda Obutaggwamu Ssuubi

Amawulire Feb 24, 2026
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Mmengo-Kyaddondo

Enkola ya Luwalo Lwaffe 2026 etongozeddwa ng’eno abantu ba Ssaabasajja mwe bayita okwongera okuwagira emirimu egikolebwa Obwakabaka.

Katikkiro Charles Peter Mayiga y’atongoza oluwalo lw’omwaka guno mu bimuli bya Bulange e Mmengo, ku mukolo ogwetabiddwako abo abasukkuluma ku balala mu 2025 era wano Owomumbuga anyonnyodde nti Obwakabaka mu kuddizibwawo mu 1993 tebwafuna mugabo gwabwo ku wa ew’okuggya ensimbi nga buddukanya emirimu kale nga obuwagizi obuleetebwa Abaganda mu luwalo bulaga omwoyo gwa Buganda ogutafa kubanga mwe muva ensimbi ezivujjirira emirimu gy’Obwakabaka.

“Omwaka oguwedde Oluwalo lwavaamu ssente ezaasoba mu kawumbi kamu n’obukadde lwenda, ensimbi ezo ziggyayo ekifaananyi eky’omwoyo gwa Buganda ogutafa era omwoyo ogwo kwekulumirirwa eggwanga lyaffe ne twewaayo okulirwanirira, ne twewaayo okuliyimirizaawo litambule nga ligenda mu maaso, ogwo gwe mwoyo gwa Buganda ogutafa” Katikkiro Mayiga bwategezeza.

Oweek Mayiga akuutidde Abaganda okuleka okwekubagiza banyiikire okulaba nti bava mu mbeera embi okufuuka yaddeyaddeko okuyita mu nkola Obwakabaka ze buze bubakiuutira nga okulima emmwanyi.

Katikkiro alaze nti oluwalo lutambulira ku nnyingo y’obwerufu era ky’ekyo lwaki Obwakabaka wansi w’Omuwanika buwa entebya y’oluwalo buli mwaka nga bulaga ebyo ebiba bikoleddwa mu nsimbi ezifunibwa okugeza omwaka oguwedde waaliwo okutandika amasomero ga nasaale mu masaza, okugula ebikozesebwa mu kuddukanya eddwaliro ly’Obwakabaka e Ssingo, okumaliriza amasiro ge Kasubi, okutambuza emirimu mu Bwakabaka, okuwaayo ensimbi z’essalira ku kisaawe ekizimbibwa e Buddu n’emirimu emirala mingi egikoledwa.

Kamalabyonna asabye abantu ba Ssaabasajja obutaggwamu ssuubi mu mirimu gye bakola nga basitula omutindo mu 2026 mu byobulimi, obusuubuzi, mu byobulamu n’ebirala.

Minisita wa gavumenti ez’ebitundu mu Buganda, Owek. Joseph Kawuki ayanjulidde abantu ba Beene ensimbi empya eza kakasidwa okuba nga zaakunganyizibwa mu mwaka 2025 ensimbi ezisoba mu kawumbi kamu n’obukadde lwenda era Minsita alaze amasaza, ggombolola, obutongole, Emiruka n’enju ebysukkulumye ku balala era bakwasiddwa ebirabo ebitali bimu nga essaza Kyaddondo lye lyasukulumye mu gonna ne liddirirwa Buddu, Busiro, Ssingo, Kyaggwe olw’o amalala ne gagoberera.

Ye Omubaka omulonde owa Bukomansimbi South Hassan Mukiibi Sserunjogi yeyamye okutambula n’Obwakabaka naddala mu ggombolola mw’awangaalira era ono ensawo y’Obwakabaka agitaddemu obukadde butaano ne yeyama n’okwasizaako mu kusereka woofiisi y’eggombolola.

Waliwo n’eggombolola 6 okuva mu Ssaza Bulemeezi ezikiise Embuga n’oluwalo olusobye mu bukadde obusoba 23 .

Okutongoza oluwalo luno kwetabiddwako Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Patrick Luwaga Mugumbule, ba minisita okuli Noah Kiyimba, Israel Kazibwe Kitooke kw’ossa n’omubaka Elias Luyimbaazi Nalukoola n’abantu ba Kabaka abalala.

LANGUAGE