
Bya Miiro Shafik
Mmengo – Kyaddondo
Kkooti enkulu eya Uganda eyimirizza mbagirawo ebiragiro bya Minisita Sam Mayanja, Phiona Barungi n’abalala bye baawa ku ttaka lya Kabaka ery’e Kaazi.
Omulamuzi Bonny Isaac Teko y’awadde ensala eyimirizza ebiragiro bya bano bye baayisa nga 10/03/2025 era bye bino;
1. Okusazaamu ekyapa kya Kabaka ku ttaka lino
2. Ekyapa okukizza mu linnya lya George Mawanda
3. Ekitongole kya URSB okuwanduukulula ekitongole ky’Obwakabaka ki Buganda Land Board
4. Okugoba abakuumi abali ku ttaka ly’e Kaazi
5. Okugaana Obwakabaka okuliyirirwa ku ttaka ly’e Kigo ewatudde ekkomera lya Gavumenti.

Oluvannyuma lwa Mayanja ne banne okuyisa ebiragiro bino, Obwakabaka nga buyita mu bannamateeka baabwo bw’ateekayo ekusaba mu kkooti okusazaamu ebiragiro bino ebitali mu mateeka. Omusango guno guzze guwulirwa mu kkooti era leero kwekuwa ensala eyimiriza Minisita Mayanja ne baakolagana nabo okukomya okwesembereza ettaka lya Kabaka ery’e Kaazi.
Owek. Daudi Mpanga Minisita wa Buganda ow’Ettaka n’Ebizimbe era ali mu woofiisi ya Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika ali mu luwummula mu kiseera kino ayogeddeko eri Bannamawulire n’ategeeza nti Obwakabaka bwetegekefu ebbanga lyonna okulwanirira ettaka lya Kabaka, ery’Obwakabaka n’erya Buganda yonna.
“Tusaba bonna abakwatibwako okugoberera ensala ya kkooti, abakuumaddembe bakuume ettaka lino nga naffe bwe tulikuuma” Owek. Mpanga.
Owek. Mpanga akikaatiriza nti ettaka ly’e Kaazi ttaka “block 273 Plot 5” lya Kabaka era lya Bwakabaka okulikuuma. Asabye bonna ababadde balisaatuukirako okwesegula mu bwangu.
Obwakabaka bulabudde abo bonna abakyalowooza okutambulira ku biragiro bino okukikomya oba sikyo amateeka gajja kubakolako.
Ekiwandiiko ky’Obwakabaka ku nsonga eno mu bujjuvu kye kino wammanga.

