Kyaggwe ne Buddu bakiise Embuga: Bawaddeyo ensimbi ezisobye mu bukadde 40

Amawulire Mar 11, 2026
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Mmengo – Kyaddondo

Ggombolola okuva mu Ssaza Kyaggwe ne Buddu zireese oluwalo lwa bukadde 40,092,500 okuwagira emirimu gya Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka.

Ku lwa Katikkiro, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Oweek Patrick Luwaga Mugumbule, y’abatikkudde n’akikaatiriza nti oluwalo ssi katala wabula buvunaanyizibwa bwa buli muntu wa Kabaka okukiika embuga okumanya ebintu nga bwe bitambula era omuntu kyaleeta embuga kyakulabirako ekiraga kyali eyo gyabeera.

Sipiika Mugumbule agamba nti oluwalo limu ku kkubo omuyitibwa okuzza Buganda ku ntikko, era Beene bulijjo atukubiriza okutwala abaana mu masomero, abantu okufaayo ku ndabika y’abwe okujjayo ekifaananyi ky’omuganda omutuufu ekyeyolekera mu mpisa, ennyambala, obuyonjo mu maka, okwoleka amakulu ga akaalo amatendo nga buli ekyetaagisa mwekiri, era obwakabaka okutuukiriza bino byonna yesigama nnyo ku buwagizi bw’abantu mu kuwayo oluwalo.

Minisita wa gavumenti ez’Ebitundu okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, Agamba nti mu kiseera kino nga buli mukulembeze ali mu kaweefube wa kusiga byanaakolera bantu mu myaka etaano egiddako, n’abaami ba Kabaka bali mu kukola nteekateeka ey’omwaka 2026, n’asaba abali mu kusiga basige bulungi naddala abalimi batwale amagezi g’ekikugu agabaweebwa ekitongole kya bucadef ate n’abazadde okubeera abeegendereza ku masomero gye batwala abaana baabwe, batunuulire omutindo n’obusobozi bw’amasomero ago n’abakuutira okuba abeegendereza eri abantu abakozesezza obubi ensawo ya Kabaka Education Fund nga babadyekadyeka, n’asaba abazadde okusooka okuzuula oba obuyambi bw’okusomesa omwana bwa babasuubizza oba bwa namaddala.

Minisita Kawuki asabye abakulembeze abaakalondebwa bafube okutuukiriza ebisuubizo bye baasuubiza abalonzi olwo abantu bafune mu miganyulo nti baakola okusalawo okutuufu okubalonda, ate n’Abaami ba Kabaka bateeketeeke bulungi emirimu gye banaakola olwo lwe banaasobola okutuusa obulungi obukulembeze bwa Ssaabassajja Kabaka mu bantu.

Omumyuka wa Pookino ow’okusatu Akubirizza abazadde okwekenneenya amasomero gye batwala abaana nti agamu tegatuukana na mutindo ekiyinza okufiiriza abaana ebiseera ebitangaavu eby’omumaaso. Ebyalo ebisinze okuleeta oluwalo ku lunaku luno kuliko; Nkokonjeru. (Ggombolola Ngogwe-Kyaggwe) Miwuula, (Ggombolola Lwabenge-Buddu) Mpaama. Kiyindi; mu ggombolola Ssaabawaali Buyikwe (Kyaggwe). Musaale Buyiisa.(Buddu) Emiruka egisinze; Namukomo okuva e Ngogwe 3, 260,000 Makukuulu 2,600,000Kibisi, 2,324000 Kiyindi 2,156000 Mumyuka Kyengeza 1,560,1000.

LANGUAGE