
Bya Pauline Nanyonjo
Bulange – Mmengo
Minisita Joseph Kawuki asabye Abaami ba Kabaka okukubiriza abantu okwetaba mu kulonda kwa 2026 basobole okufuna eggwanga lye baagala.
Obubaka buno abuwadde asisinkanye Abaami b’amasaza, Abamyuka baabwe, Abalezi, n’abalambika ku nteekateeka y’emirimu eginaakolebwa mu mwaka 2025 mu nsisinkano eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.
Owek Kawuki ategeezezza nti mu kiseera kino nga eby’obufuzi bikutte wansi ne waggulu nga eggwanga ligenda mu kulonda, abaami b’amasaza basaanye bakubirize abantu okwenyigira mu kulonda abakulembeze abanaabakiikirira ku mutendera gw’eggwanga era babongereko omuwendo.
Mu kiseera kino nga amasomero g’Obwakabaka aga Nnasale gagenda ku ggulwawo, Minisita Kawuki asabye abaami bano okwenyigira mu ntambuza y’emirimu ey’amasomero gano olwo gatuukagane n’omutindo oguwesa Obwakabaka ekitiibwa.
Ab’amasaza babanguddwa ku bikwata ku musujja gw’ensiri olwo nabo baddeyo mu bitundu byabwe babunyise enjiri eno mu bantu ng’omu ku kaweefube w’okutereeza eby’obulamu bw’abantu mu ggwanga.