Minisita Nakate Kikomeko akubirizza abamaliriza emisomo obutapapira bugagga 

Share This

Bya Shafik Miiro

Maya – Busiro

Minisita w’ Ebyenjigiriza mu Bwakabaka, Owek. Chotildah Nakate Kikomeko akubirizza abamaliriza emisomo obutapapira bugagga naye bakimanye nti obuwanguzi butwala akaseera.

Owek. Nakate bino abyogeredde ku matikkira ga International Paramedical and Nursing Institute e Maya mu Busiro ku Lwomukaaga, abayizi abafunye obukugu obw’enjawulo mu eby’obujjanjabi, abasawo, abazaalisa n’abalala bwe babadde batikkirwa oluvannyuma lw’okumalako emisomo gyabwe.

Minisita Nakate agamba nti kikulu nnyo omuntu amaliriza okusoma okuwaayo obudde okukuguka mu ky’akola era n’omulimu gw’akola ng’aguwa ekitiibwa era ng’agukola mu ngeri ey’omutindo olwo obugagga bujja bwokka. 

Akubirizza abatikiddwa okufaayo okweyongerayo okusoma, okweyambisa amagezi ge bafunye okukola emirimu mu ngeri ey’ekikugu n’okukwata obulungi be baweereza olwo Ensi y’emirimu esobole okubanguyira.

Owek. Nakate yeebazizza omutandisi w’ettendekero lino Dr. Steven Sseruyange olw’okugunjula abaana b’Eggwanga ate n’okuweereza Ssaabasajja anti ono Mumyuka wa Ssebwana. Mu ngeri y’emu yeebazizza abazadde olw’okuweerera abaana  era abasabye bongere n’okubaluŋŋamya mu Nsi y’ebyemirimu gye boolekedde.

Omukolo guno gwetabiddwako Baminisita ba Kabaka, Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, Bannaddiini, abazadde n’abantu abalala.

LANGUAGE