MMWANYI TERIMBA | Katikkiro Mayiga asabye abakulembeze okukyusa embeera z’abantu bebakulembera

Amawulire Feb 27, 2025
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Mawokota

Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abakulembeze ku mitendera egyenjawulo naddala bannaddiini okutandikawo enteekateeka ezikyusa embeera z’abantu bebakulembera.

Bino abyogeredde musaza Mawokota bwabadde alambula omulimi w’emmwanyi Anthony Mateega ku Lwokuna.

Owek. Mayiga agamba nti embeera z’abantu okukyuka zitwaliramu ne bannaddiini  nga bano tebalina kukoma ku kuliisa kigambo kyokka kubanga ne Bayibuli egamba nti  bayibuli egemba nti atakole n’okulya telyenga.

Kamalabyona asoosekedde mu Ggombolola ya Mumyuka Kammengo nalambuzibwa enkoko n’emmwannyi ebitudde ku yiika eziri mu 70 saako ekung’aaniro ly’amazzi agagenda okufukirira emmwanyi.

Oluvudde wano ayolekedde mu Ggombolola ya Ssaabagabo Muduuma ku kyalo Bbulamazzi  okulambula Faamu ya Mwami Anthony Mateega endala ewezaako yiika 30 nga takoma  kulimirako Mmwanyi zokka wabula n’okulundirako ebisolo ebyenjawulo okuli ente,embuzi, enkoko,ne Ssekkoko.

Kamalabyona alaze obwetaavu bwokwongera okukyusa embeera z’abantu  ba kabaka naddala abasokerwako kubanga basasula omusolo mungi.

Mukuumaddammula ayongedde okukubiriza abantu ba kabaka obutabongoota beefeeko nga betanira enteekateeka z’obwakabaka nga mmwanyi Terimba.

 Minisita w’Obwakabaka avunaanyizibwa ku byobulimi obulunzi n’obweggasi,  Owek. Hajji Amis Kakomo akubiriza abantu ba Kabaka okufaaayo  ennyo okulimira awafunda era bafukirire kubanga embeera y’obudde ekyukakyuka.

Kayima Sarah Nannono alaze obwetaavu bw’abantu ba kabaka okulima gonja  mu Buganda kubanga watunzi.

Omwami Anthony Mateega ayitiddemu Kamalabyona ku ebikolebwa ku faamu naamulaga obwenyamivu olw’obwasemugayaavu obuli mu bantu bakabaka kyoka nga ebikozesebwa babirina.

Abaami bakabaka okubadde ab’eggombolola n’emiruka bebaziza kamalabyona olw’okubatuusako enteekateeka z’Obwakabaka.

LANGUAGE