Mukulembeze Amazima Mirimu – Minisita Kazibwe Akubirizza Abatikkiddwa

Amawulire May 09, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Ndeeba – Kyaddondo

Minisita w’Amawulire n’Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke yetabye ku matikkira g’abayizi ba Victory School of Beauty and Hospitality Management ku oguyindidde ku St. Lawrence University mu Ndeeba.

Minisita Kazibwe alaze obwennyamivu olw’abayizi abamaliriza okusoma ne bafuna emirimu kyokka ne batandika kukola neemalidde ne batafaayo ku mirimu gya bakama baabwe abalala ne bakola n’amalala n’obulimba ekikosa ntambuuza y’emirimu. Ab’ekikula kino abakuutidde okukulembeza empisa nga bagenda mu nsi y’emirimu basobole okuwangula.

Owek. Kazibwe era alabudde abayizi okwetangira endwadde ya mukenenya nga Ssabasajja Kabaka bw’akuutira abavubuka n’abasajja entakera.

Ettendekero lya Victory School of Beauty and Hospitality Management litikidde abayizi abasoba mu 100 mu masomo ag’enjawulo nga mubo mubaddemu abakuguse mu mirimu gy’emikono n’egyobwongo omuli okusiba enviiri, okuyooyota abagole, okufumba, ebyalaani, n’emirimu emirala mingi era nga guno mulundi gwa mukaaga nga etendekero lino lifulumya abayizi mu masomo ag’enjawulo.

Omutandisi w’essomero lino Mw. Robert Kasibante yebaziza nnyo Katikkiro Charles Peter Mayiga olw’okuyambangako etendekero lino mu nteekateeka ez’enjawulo kyagamba nti kibafudde ab’etutumu mu ggwanga.

Omumyuka Owookusatu owa Ssaabaminisita Hon. Lukia Isanga Nakadaama akalaatidde abalenzi okujjumbira ebyemikono kubanga bijja kubayamba nnyo okukyusa ebiseera byabwe ebyomumaaso nga bwe guli ku bawala.

LANGUAGE