Mulekere awo okugeraageranya obufumbo – Minisita Kiyimba

Amawulire Jun 30, 2025
Share This

Bya Miiro Shafk

Namirembe – Kyaddondo

“Obufumbo okuwangaala n’okubanyumira, mwewale okwegerageranya ku balala, mukole ebyo ebiri mu busobozi bwammwe” Minisita Kiyimba

Owek. Noah Kiyimba- Minisita wa Kabineeti, Olukiiko,Abagenyi n’ensonga ez’enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro

Owek. Noah Kiyimba akubirizza abavubuka obutatya bufumbo ng’annyonnyola nti newankubadde wabaawo ebisoomooza mu bufumbo, bwe wabaawo omukwano omuggumivu wakati w’abagalana ebisigadde bivaawo.

Minisita Kiyimba okwogera bino abadde akiikiridde Katikkiro ku mukolo gw’abasirikale mu ggye lya Kabaka erya KPU, Kafeero David ne Namutebi Eva ogubadde ku Namirembe Guest House.

Minisita Kiyimba bano abeebazizza olw’obuweereza bwe bakola mu Bwakabaka naddala ensonga enkulu ey’okukuuma Kabaka. Abeebazizza olw’okusalawo ne bakola obufumbo obutukuvu okwawukanako n’abavubuka abatya obufumbo ensangi zino.Abasiribiridde entanda ya buli omu kwagaliza munne ekisinga obulungi, era beewale okugeerageranya obufumbo bwabwe ku bw’abalala wabula bakole ebyo ebiri mu busobozi bwabwe, baagalane, olwo obufumbo bubanyumire era buwangaale.

David Kafeero ne Eva Namutebi

Abasirikale bano Kafeero David ne Namutebi Eva bamaze emyaka kumpi 12 nga baweereza mu ggye erikuuma Kabaka erya KPU.

Derrick Sserunjogi avunanyizibwa ku byensimbi mu kitongole kye Nkuluze, y’akiikiridde Ssenkulu waakyo ku mukolo guno era ono mu bubaka bwe akulisizza abagole olw’okuyingira obufumbo obutukuvu, era abasiridde okwezimba era bakole amaka webasangibwa nga bavudde ku mirimu ate wamu n’okwekuuma nga balamu era baafeeyo okuweerera ezadde lyonna Katonda ly’anaabawa. Abaagaliza obufumbo obulungi nga buli afaayo okulabirira munne.

Captain Christopher Lutwama akulira ekitongole ekikuumi ekya Kabaka ki Kabaka Protection Unit yeebazizza abantu bonna abawaddeyo obudde n’obuwagizi obw’enjawulo ku lw’omukolo gwa bannaabwe bano, era ono akuutidde abagole okwongera obwesigwa mu bufumbo bwabwe, bakuumagane baleme kuswaza kitiibwa kya mulimu gwe bakola. Abasuubiza nti ekitongole kyakwongera okuyimirira nabo okulaba nti obufumbo bwabwe bunywera.

LANGUAGE