Musiime Abantu nga bakyawulira – Katikkiro Mayiga

Amawulire Jul 12, 2025
Share This

Bya Miiro Shafik

Ggaba – Kyaddondo

Obuganda busiimye obuweereza bwa Hajj Musa Ssemambo Musoke, Omwami wa Kabaka ow’Eggombolola Mutuba III Makindye ku mukolo ogubadde e Ggaba.

“Kirungi okwebaza abantu nga bakyali balamu okusinga okubalinda okufa ne muboogerako ebirungi nga tebawulira” Katikkiro yebazizza abo abaleeta ekirowoozo okuwebaza Hajj. Musa Ssemambo.

Katikkiro agamba nti Hajj Ssemambo kyakulabirako eri Abaami ba Kabaka bonna era asinzidde wano n’akubiriza abakulembeze okubeera okumpi ne bebakulembera, okunnyikiza emirimu gye bakola, okugatta abantu n’okutuukiriza obuvunanyizibwa bwonna obubasuubirwamu.

Kamalabyonna yebazizza Hajj Ssemambo ne mukyala we Faiza Nankubuge Musoke olw’okutambuza obufumbo emyaka 50 ne bakuumagana, ne bakuza abaana era ne babagunjula bulungi. Ategeezezza nti “Omuntu atasobola kukulembera maka ge, nga tasobola na kukuuma mukyala we, era tasobola kukulembera wantu walala wonna”

Wakati ye Katikkiro Charles Peter Mayiga ng’ali ne Hajj Musa Ssemambo Musoke ne Mukyala we Faiza Nankubuge Musoke

Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Owek. Joseph Kawuki, ayogedde ku Hajj Ssemambo ng’Omukulembeze akolagana n’abantu, omuwulize, omunyiikivu, ate ayagala ennyo Kabaka we n’Obwakabaka bwonna. Ategeezezza nti ono alwanirirwa nnamulondo mu ngeri zonna era afaayo okukola obuvunanyizibwa bwe ng’Omwami wa Kabaka.

Minisita Kawuki asabye Abaami ba Kabaka bonna bwe balaba omuweereza onulungi nga Hajj Ssemambo, baleme kukungiriza bukungiriza by’akola wabula bamukoppeko ebirungi nabo bongere okutumbula empeereza mu bifo by’obukulembeze mwe bali. Yebazizza Abaami bonna abatambudde ne Hajj Ssemambo mu kutuukiriza obuweereza bwe eri Obuganda.

Hajj Musa Ssemambo Musoke yebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okumuwa omukisa okumukulemberako abantu be mu ggombolola Mutuba III Makindye, yebazizza Katikkiro Charles Peter Mayiga, Kabineeti gy’akulembera nayo olw’okulambikanga entambuza y’emirimu mu Bwakabaka. Yebazizza Abaami bonna bakozeeko nabo ne baakyakola nabo okutuukiriza obuvunanyizibwa Kabaka bwe yamutuma eri abantu be.

Hajj Ssemambo yebazizza mukyala we bwe bakumaaganye emyaka 50, wamu n’abooluganda lwe ne mikwano gye gyonna abayimiridde naye mu buweereza obw’enjawulo bw’akoze. Ategeezezza nti omukolo guno tegwategekeddwa kumusiibula, wabula akyagenda mu maaso n’okuweereza Obwakabaka ne Kabaka we.

Omutaka Mukalo David Ssesanga, Omukulu w’Ekika ky’Enjovu aainzidde wano ne yebaza muzukkulu we Ssemambo olw’obuweereza obulungi eri Obwakabaka n’obujjumbize mu mirimu gy’Ekika. Ayogedde ku muzzukulu we ng’omuntu omwesigwa era omumalirivu mu mirimu gyonna gy’akola.

Hajj. Musa Ssemambo Musoke ye Mwami wa Kabaka ow’Eggombolola Mutuba III Makindye, Katikkiro amwebazizza olw’okusitula ekifaananyi ky’eggombolola eno ng’akola emirimu egireseewo okuvuganya okw’amaanyi mu buweereza bw’Eggombolola zonna mu Buganda. Mutuba III Makindye ezze ewangula engule ng’eggombolola esinze mu kukunganya Oluwalo mu Buganda yonna, n’esingako mu nkola y’emirimu ate nga n’omwaka guno ye yawangula ekikopo ki Kaggo Cup ekiwakanirwa eggombolola zonna mu Kyaddondo.

Omukolo guno gusitudde ebikonge ebyenjawulo omuli; Katikkiro Charles Peter Mayiga, Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Baminisita ba Kabaka, Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, Supreme Mufti Sheikh Muhammad Galabuzi n’abantu abalala bangi, enganda n’emikwano.

LANGUAGE