
Bya Gerald Mulindwa
Kakeeka, Mmengo – Kyaddondo
Ssettendekero wa Muteesa I Royal University ayanjudde Nnamutayiika wa myaka etaano 2025-2030. Nnamutayiika ono atunuuliziddwa okutumbula ebyensoma eri abayizi, okubongerako omutindo mu bisomesebwa n’obuntubulamu.
Omumyuka Asooka owa Katikkiro Prof. Hajj Twaha Kaawaase Kigongo ku lwa Katikkiro y’atongozza nnamutayiika ono ku mukolo ogutegekeddwa ku ssettendekero ono ku ttabi lye Mmengo Kakeeka. Oweek. Twaha Kaawaase ategeezezza nti Ssaabasajja Kabaka bw’anaasiima gano gasaanye okuba amakula ag’enjawulo mu bijaguzo by’amazaalibwa ge ag’emyaka 70 egy’ekitiibwa.
Prof. Kaawaase asabye abakulembera ssettendekero ono okufulumya digiri entuufu era ezikakasiddwa National Council for Higher education okwewala okuggalwawo n’okufiiriza abayizi ebiseera byabwe bye bamaze nga basoma. Ono era alaze Ssettendekero ono obuvunaanyizibwa bweyolekedde mu kusomesa ku bintu Obwakabaka bye bukkiririzaamu omuli; federo, obuwangwa n’ennono, era bissibweko essira omuyizi abimanye nti bya mugaso mu Nsi yonna. Mu buufu obwo abasuubiramu okugatta abantu ba Kabaka nga bakozesa ennyingo y’obumu, mu mawanga, eddiini, n’ekikula.
Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu era avunaanyizibwa ku byenjigiriza, Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, agamba nti minisitule gy’akulembera ya kufuba okulaba nga ssettendekero ono atuukiriza ebiruubirirwa byayo nga tevudde ku mulamwa ogwagitandisaawo.
Eng. Dr. Frank Ssebbowa, Ssentebe wa bboodi ya Ssettendekero ono, ayagala Nnamutayiika ono abale ebibala ebinaaganyula abayizi okuggyayo ekigendererwa ky’okufulumya omuyizi aggumidde obulungi.

Ssenkulu wa Ssettendekero wa Muteesa I, Prof. Vincent Kakembo ng’ayanjula enteekateeka nnamutayiika, agambye nti balina okwolesebwa okuwa abayizi amaanyi bavuganye ku mutendera gw’Ensi yonna nga bayita mu kunoonyereza n’okubabangula mu nkola y’emirimu byonna nga bigerenddwamu okufuula ssettendekero ono asinga mu ggwanga ne mu buvanjuba bwa Afirika.
Omukolo guno gwetabiddwako Minisita w’Obulimi mu Bwakabaka Oweek. Hajj Amisi Kakomo, Ssenkulu wa Buganda Royal Institute Oweek. Joseph Balikuddembe Ssenkusu, Omutaka Kiddimbo Grace Bakyayita, n’abakungu okuva mu gavumenti ya wakati.