
Bya Shafik Miiro
Bulange – Mmengo
Nnaabagereka Sylvia Nagginda atongoza ekijjulo kya ‘Queens Ball’ eky’ omwaka 2025, naasaba Gavumenti okwongera ku malwaliro agajjanjaba abalwadde b’omutwe kiyambe abalina obuzibu buno okufuna obujjanjabi obugwanidde.
Okusaba kuno Nnaabagereka akukoledde mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna naakuutira Abantu okuyambako kwabo abalina obuzibu ku bwongo olwo kiyambeko okukendeeza ku muwendo gw’abantu abafuna obuzibu buno
Nagginda ategeezezza nti abantu bangi bafuna obukosefu ku bwongo kyokka embeera eno ne bagisirikira ate abamu nga tebamanyi bumanya kibasumbuwa.
Agasseeko nti enteekateeka y’ekijjulo kino, eriwo okwongera okumanyisa ku bulwadde buno, okugatta amaanyi n’okusonda ensimbi okuyamba kw’abo abalina obukosefu ku bwongo.

Minisita w’ Ebyobulamu, Embeera z’ Abantu wamu ne Woofiisi ya Nnaabagereka, Owek. Choltilda Nakate Kikomeko annyonnyodde nti nteekateeka eno egenderera okulaba nti okwetya okwogera ku bulwadde bw’obwongo kuggwawo.
Ono agamba nti Nnaabagereka omumuli gw’akutte gwakwongera amaanyi mu kumanyisa abantu bwe bayimiridde, n’abalina obusobozi okuyamba kw’abo abalina obukosefu ku bwongo era singa wabaawo okukwatira awamu embeera esobola okutereera.
Akulira eddwaliro ly’e Butabika, Dr Juliete Nakku agamba nti okuva ekirwadde kya COVID-19 bwekyalumba eggwanga omuwendo gw’ abafuna obuzibu mu bwongo gwe yo gera nnyo mu bavubuka.
Dr. Nakku ategeezezza nti ebibalo biraga nti ku buli bantu bana kuliko omu alina obukosefu ku bwongo era n’okunonyereza okwakolebwa Minisitule y’Ebyobulamu n’eddwaliro lye Butabika kwalaga nti abaana abato naddala abakyali mu masomero ebitundu 30%, balina embeera etali ntebenkevu mu bwongo bwabwe ekintu ekiviirideko abamu okwetusaako ebikolwa eby’okwagala okweggya mu bulamu.

Okusinziira ku Suzan Lubega ng’ono ye Ssentebe wa Nnaabagereka Fund atubuulidde nti ekijjulo kino kya kubeera ku Sunset Terrace – Speke Convention Center e Munyonyo nga 2/05/2025 wansi w’omulamwa ogugamba nti “Obujjanjabi bw’ebirowoozo”
Bannamukago ab’enjawulo nga bakulembeddwamu I&M Bank, Plascon n’abalala, bavuddeyo okuwagira enteekateeka eno okugamba kwabo abalina obukosefu ku bwongo.