Nnaabagereka Sylvia Nagginda adduukiridde ab’ e Butabika neebikozesebwa 

Amawulire Apr 17, 2025
Share This

Bya Shafik Miiro

Butabika – Kyaddondo 

Nnaabagereka Sylvia Nagginda adduukiridde abalwadde b’ e Butabika neebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo basobole okufuna obulamu obulungi. 

Buno Nnaabagereka abikoledde wansi w’ enteekateeka gyaliko ey’okulaba amanyisa abantu ku bulwadde bw’ omutwe.

Nnaabagereka agambye nti alambudde eddwaaliro lino okwongera okuwuliriza, okuyiga ate n’okuyimirira awamu naabo abeewaayo okujjanjaba abalina obukosefu obw’enjawulo ku bwongo.

Nnaabagereka yeebazizza nnyo abasawo wamu n’abakulira eddwaliro ly’e Butabika olw’omulimu gwe bakola mu kujjanjaba endwadde z’emitwe.

Annyonnyodde nti  wano ekitongole bye ki Nnaabagereka Development Foundation wekitadde amaanyi kubanga abantu bangi abakosebwa endwadde z’emitwe naddala okuva ekirwadde ki lumiimamawuggwe lwe kyalumba Ensi.

Ssenkulu w’eddwaliro ly’e Butabika,  Dr. Juliet Nakku alaze essanyu lya nsusso olw’obugenyi bwa Nnaabagereka, namwebaza olw’ okusitukiramu okumanyisa bannansi ku bulwadde buno era nalaga essanyu olw’ ebitabo byabawadde.

Ab’Eddwaliro lino baliko n’engule gye bawadde Nnaabagereka okusiima olw’amaanyi g’atadde mu kulwanyisa endwadde z’emitwe.

Ssentebe w’ ekibiina ki Nnaabagereka Nagginda Women’s Fund, Susan Busuulwa Lubega nga yakuliddemu kaweefube ono, agamba nti bwe bakizuula nti abantu bangi bakoseddwa endwadde z’emitwe basalawo okusoosowaza ensonga eno okubadduukirira.

Ono akoowoodde abantu okubeeyungako ku ekyeggulo ekimanyiddwa nga ‘Queen’s Ball’ ekinaabawo nga 2/05/2025 ku Sunset Terrace e Munyonyo, eno nga basuubira okwongera okusondera ensimbi okulaba nti badduukirira abalwadde bongere okufuna obujjanjabi bwe beetaaga.

LANGUAGE