
Ssaabasajja Kabaka Asiimye n’aweereza Obuganda obubaka obw’Amazuukira ga Yesu Kristo ag’omwaka 2025
Obubaka bwa Nnyinimu bwe buno mu bujjuvu
“Tubakulisa okuyita mu kiseera eky’okusiiba n’okwegayirira. Ekiseera kino. kitunyweza mu kukkiriza, okwagalana nokuba n'essuubi mu bulamu bwaffe. Kitubikkulira obuweereza obw
amazima obujjudde obwenkanya, emirembe. n’obuteegulumiza.
Bulijjo okusoomoozebwa okututuukako, tuddukira eri abakulembeze baffe batereeze ebiba bisobye. Kyenva mbasaba mu kiseera nga kino, okujjukiza abakulembeze baffe abalonde nti, ffe twabatuma okutuweereza n’okutuukiriza ebitukwatako mu bitundu gye tuva. Tunakuwala okulaba ng’abantu baffe bafiira mu mukoka ayanjaala mu kibuga ekikulu Kampala buli nkuba lwetonnya. Wateekwa okubaawo ekikolebwa ku nsonga eno.
Ffe nga Obwakabaka tulaba okulyazaamanyizibwa ku bisuubizo ebitannatuukirira Ebimu nga twabikkaanyaako ate nga tubijjukiza abakulembeze baffe entakera. Kino tukikola nga tumanyi nti, Uganda nsi yaffe ffenna, kyokka tugirinako omugabo ng’Obwakabaka. Obwo bwe bukulembeze bwe tuyaayanira mu nkulaakulana ya Uganda
Twebaza abantu baffe abongedde amaanyi mu kulima emmwanyi. Lino lye limu ku makubo aganaatusobozesa okweyimirizaawo n’ okweggya mu bwavu. Tubakubiriza okukuuma omutindo mu kunoga, okwanika n’okusunsula emmwanyi. Kye tusaba gavumenti ku nsonga y`emmwanyi, kwe kukuuma ebbeeyi y’emmwanyi ku miwendo egiganyula omulimi n’okuwagira abantu ba ssekinnoomu n’abali mu bweggassi okuzimba amasunsuliro g’emmwanyi mu bitundu gye zirimibwa. Omulimi oba omusuubuzi aleme kufiirwa nsimbi ng’atambuza emmwanyi mu bitundu eby’ewala.
Tubaagaliza Amazuukira ag’essanyu n’emirembe. Tubajukiza nti, lwoya lwa mu nnyindo olweggya wekka. Tukole, twenyigire mu by’obukulembeze era tuleme kusirikira nsonga ezitukwatako ng’eggwanga. Tuleme kuwubisibwa ku nsonga yonna ekwata ku Bwakabaka.
Omukama Abakuume”