
Bya Shafik Miiro
Kammengo – Mawokota
Obwakabaka bukungubagidde Omuk. Wilberforce Senjako William Gary abadde Omubalirizi omukulu ow’ebitabo mu Gavumenti ya Kabaka eyafudde ku wiiki ewedde.
Mu bubaka bwe Kamalabyonna obusomeddwa Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha bw’ abadde ayogerako ERI abakungubazi e Nabbuzi – Kamengo, omugenzi gy’aziikiddwa ku Lwokubiri.
Mu bubaka buno, Katikkiro Charles Peter Mayiga asaasidde nnyo Namwandu abooluganda n’emikwano gy’omugenzi olw’okuviibwako omwagala waabwe.
Yeebazizza nnyo Nnamwandu Monica Kisubi Senjako olw’okujjanjaba bba ebbanga lyonna naddala mu kiseera ky’amaze ng’atawanyizibwa obulwadde.
“Twebaza Katonda olw’obulamu bw’awadde munnaffe ono obumusobozesezza okukola emirimu gyonna gy’akoze ku Nsi, omubadde n’okubeera Kalondoozi w’Obwakabaka, omulimu gw’akoledde ddala obulungi okutuusa lw’afudde” Katikkiro Mayiga.

Owek. Mayiga ayogedde ku mugenzi ng’omuntu abadde omukwatampola, omukkakkamu, omwetowaze, omukozi, omumalirivu era aweereza Kabaka we n’okwagala.
Ono agasseeko nti Obwakabaka bibadde bumulinamu essuubi ddene mu kutuusa emirimu gy’obwa Kalondoozi ku ddala erya waggulu.
Wano asaasidde abaana olw’okuviibwako Taata n’abooluganda bonna n’asaba Katonda abayise mu kiseera akazibu ddala bonna ate omugenzi amulamuze kisa.
Ku lulwe Owek. Prof. Twaha Kaawaase era nga ye Ssentebe w’Akakiiko k’ababalirizi b’ebitabo mu Bwakabaka agamba nti Obwakabaka bufiiriddwa nnyo ddala omuntu abadde omukugu ddala mu mirimu gye, ng’akozesa obwenkanya, obwerufu n’obwagazi eri Kabaka we n’Obwakabaka.
Ategeezeza nti okuva ekifo kya Kalondoozi lwe kyatandikibwawo mu Bwakabaka, ono abadde wakusatu, kyokka abadde n’enkizo ng’omulimu aguwa obudde nga bwekyetaagisa.
Nnamwandu w’omugenzi, Omuky. Monica Senjako, yeebazizza Katonda olw’obulamu bw’awadde bba, neyeebaza bonna abamuyambye okulaba nti bba afunye obujjanjabi bwonna bw’abadde yeetaaga okutuuka Katonda lw’amujjuludde.

Mu ngeri ey’enjawulo yeebazizza Obwakabaka bwa Buganda olw’okugumiikiriza bba, nti ne mu biseera nga mulwadde bwamujjanjaba ate nga n’omulimu gwe tegumuggyiddwako.
Omuk. Wilberforce Ssenjako agalamiziddwa ku biggya bya Bajjajjaabe. Omukolo guno gwetabiddwako Loodimmeeya Erias Lukwago, abakungu n’abaweereza okuva mu Gavumenti ya Kabaka n’eya wakati, abakozi mu bitongole eby’enjawulo omugenzi gye yakolerako, n’abantu balala bangi.