Obwakabaka bulabudde eyeeyita Kabaka w’Emisambwa

Amawulire Jan 23, 2025
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Bulange – Mmengo

Obwakabaka bwa Buganda bufulumiza ekiwandiiko ekitongole ku  musajja Moses eyakolebwako emikolo egyefananyiriza egyo egikolebwa ku Kabaka nebulabula abo bonna abagezaako okuvvoola Nnamulondo nti tebajja kumalako.

Ekiwandiiko kino Minisita w’Amawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Israel Kazibwe Kitooke yakisomye mu lukung’aana lwa bannamawulire olutudde mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna.

“Waliwo obutambi obw’enjawulo obuzze bulabikira ku mitimbagano nga bugezaako okuvvoola ekitiibwa kya Nnamulondo. Mu butambi buno, Omw. Kafunende Moses ng’ono yeyita Kabaka w’emisambwa aliko omukolo ogwali e Nakateete mu Buddu mwe yakolebwako emikolo egimanyiddwa nga gikolebwa ku Kabaka wa Buganda yekka,” Minisita Kazibwe bw’ annyonnyodde.

Ono agattako nti mu butambi buno mulabikiramu n’omusamize eyeeyita Ssaabakabona Jjumba Aligaweesa ono ye yayanjula munne Kafunende nti atuuzidwa ku Nnamulondo ya Bajjajjaabe e Kibulala era nga bwafuuse  Kabaka.

Minisita Kazibwe akakasizza nti  ebikolwa eby’engeri eno ebirabikira mu butambi buno tebyekuusa ku nnono yonna mu Bwakabaka bwa Buganda era si bituufu n’akatano bwekati era abantu tebasaanye kubimalirako budde.

Mu ngeri ey’enjawulo, Owek. Kazibwe yeebazizza Ssaababito we Kibulala olw’okuvaayo nayanukula abantu bano abagezaako okutataaganya abantu ba Ssaabasajja Kabaka nga beerimbika mu bikolwa bino eby’obwewusa.

Minisita Kitooke ajjukiza abantu ba Buganda nti ensonga Ssemasonga esooka eri “Okukuuma n’okutaasa Nnamulondo” etukwatako ffenna era tetuteekeddwa kukkiriiza muntu yenna kuzanyira ku Nnamulondo wadde okutyoboola ekitiibwa kyayo.

Akuutidde abantu ba Kabaka okwegendereza abantu ekikula kino kuba balina ebigendererwa ebitali Birungi era balina ababali emabega ng’omulamwa gwabwe omukulu kubeera kwawula mu bantu ba Kabaka bwatyo naabasaba okunyweza obumu.

Owek. Kazibwe asabye abantu ba Buganda bulijjo okwewala amawulire agafulumira ku mutimbagano naye batwale era beesige ebyo ebifulumidde ku mikutu emitongole egy’Obwakabaka.

Ku nsonga y’ Abebyokwerinda abaweebwa omwami oyo Wassajja Moses,  Minisita ajjukizza Obuganda ku bigambo bya Ssaabasajja Kabaka  bweyalaga nti waliwo abantu abefunyiride okutyoboola  n’okwonona Obwakabaka.

Ku kibonerezo ekiwebwa omuntu eyeeyisiza nga Wasajja mu Bwakabaka, Owek Kazibwe agambye nti Wasajja alina abakulu abamutwala mu nnono  okuli Ssababito we Kibulala nga ajja kkola omulimu gwe.

LANGUAGE