Obwakabaka busiimye Centenary Banka  olw’enkolagana gy’erina ne bakasitoma

Ebyobusubuuzi Mar 04, 2025
Share This

Bya Shafik Miiro

Kampala – Kyaddondo

Obwakabaka busiimye empeereza ya Centenary Bank olw’ enteekateeka ez’enjawulo ezigendereddwamu okutumbula embeera za bakasitooma baayo.

Okwebaza kuno kukoleddwa Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo bw’abadde ku mukolo bbanka eno kwesiibululidde Abasiraamu nga guno gubadde ku Hotel Africana.

Owek. Kaawaase agamba nti Centenary Bank erina emikago egy’enjawulo omuli n’Ogwobwakabaka, nga guno guvuddemu ebibala eby’enjawulo, bano bamanyiddwa nga bamu ku bavujjirizi b’empaka z’Omupiira gw’Amasaza, ekyeggulo kya Kaliisoliiso, n’enteekateeka endala.

Ono bwatyo akubirizza abantu okwongera okwesiga bbanka eno mu nkola eya akuwa naawe gw’owa.

Supreme Mufti Sheikh Muhammad Galabuzi naye asinzidde wano ne yeebaza abakulira bbanka eno olw’okuvangayo ne baddiza n’okuwagira enteekateeka z’obusiraamu ez’enjawulo omuli okuzimba amalwaliro, amasomero ate n’eno gye bakola buli mwaka ey’okusiibulula Abasiraamu.

Ssenkulu wa bbanka eno Omuk. Fabian Kasita ategeezezza nti ng’abaddukanya bbanka eno kibawa amaanyi buli lwe balaba ng’abantu babeesiga era ne babawagira kale nga nabo kibakakatako okuddiza bakasitoma baabwe. Naye yebaziza enkolagana Obwakabaka n’Obusiraamu gye bulina ne bbanka yaabwe, era aweze okwongera okuwagira okutambulira awamu nabo.

LANGUAGE