Obwakabaka butongozza omusomo ku nfumba etaasa Obutondebwensi

Amawulire Feb 27, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Kampala – Kyaddondo

Obwakabaka bubangudde ku ngeri gyebasobola okufumbisa amasanyalaze amayonjo bayamba okukuuma Obutondebwensi mu mbeera y’ obudde ekyuka buli olukya.

Mu bubaka bwe bwatisse, Omumyuka Asooka owa Katikkiro Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza nti omusomo guno gujjidde mukiseera ekituufu kubanga ebbugumu lyeyongedde olwabantu abasanyaawo obutonde bwensi.

Katikkiro ategeezezza nti kyetaagisa obuyiiya okukyusa mu nkola y’emirimu abantu abadde ku masanyalaze  kubanga ebikozesebwa nga ettaka, enku, amazzi bikendede bwobigerageranya ku bibalo by’abantu mu ggwanga nga kino kivudde ku  bantu abakola mu ngeri ya kifiriza.

Owek. Kaawaase yeebaziza nnyo Gavumenti eyawakati awamu neya Bungereza abavuddeyo okuwagira enteekateeka eno egendereddwamu okukulaakulanya embeera y’abantu mu masaza g’Obwakabaka gonna.

Yeebaziza gavumenti okuggyako ebikozesebwa mu kufumba kuno omusolo nagamba nti kijja kwanguyiza bannansi okubifuna.

Akikiridde Omukiise wa Bungereza mu Uganda, Mwami Benjamin Zeitlyn era nga yakulira Obutondebwensi ku kitebe asanyukidde enteekateeka neyeeyama okutambulira awamu n’Obwakabaka.

 Minisita w’Amasanyalaze n’Obugagga Obw’omu ttaka, Ruth Nankabirwa    yeebaziza nnyo Obwakabaka okukulemberamu kaweefube w’okusimba emiti mu nteekateeka nga okusimba Ekibira kya Kabaka, mu kwanjula n’ebirala bingi nnyo.

Dr. Nankabirwa ayogedde ku nkolagana ennungi eriwo wakati wa Minisitule gyakulembera ne Minisitule y’Obutondebwensi mu Bwakabaka nga kino kisobozeseza okutandika kaweefube ono agenda okutalaaga Obuganda bwonna.

Minisita wa Bulungibwansi, Obutondebwensi, Amazzi n’Ekikula ky’Abantu, Oweek Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo alaze nga bwewaliwo obwetaavu okusenvula okudda ku kufumbisa amasanyalaze amayonjo okusobola okukendeeza ebirwadde ebyekuusa ku mukka oguva mu ssigiri n’enku.

Akulembeddemu okusomesa kino, Dr. Nicolas Mukisa annyonnyodde emigaso gy’ okufumbisa amasanyalaze naasaba Abantu okwettanira enkola eno.

Omusomo guno gutambulidde wansi w’ omulamwa ogugamba nti “Kyuusa Enfumba yo okutaasa Obutondebwensi”

Omukolo guno gwetabiddwako baminisita ba Kabaka ab’enjawulo; Oweek. Israel Kazibwe Kitooke, Oweek. Noah Kiyimba, Oweek. Cotilda Nakate Kikomeko, Oweek. Hajj Amisi Kakomo, abaami b’amasaza n’amaggombolola n’amasomero ag’enjawulo.

LANGUAGE