
Bya Pauline Nanyonjo
Bulange – Mmengo
Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa aweze okwongera okulaakulanya abantu ba Kabaka nga Obwakabaka buyita mu mpeereza ezitumbula embeera zaabwe.
Obubaka buno Minisita Waggwa abuweeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bw’abadde ayanjula entebya y’Oluwalo olusoba mu kawumbi kamu n’obukadde 600 (1,686,199,406/=) ezaaleetebwa abantu omwaka oguwedde.
Owek. Nsibirwa ategeezeza nti bw’ogeraageranya n’omwaka oguwedde ensimbi z’oluwalo zirinnye ebitundu 8.27%, era kino akyesigamiza ku mukwano abantu ba Buganda gwe balina eri Kabaka, ettutumu lya Buganda mu Uganda n’Ebweru waayo, Obunyiikivu bw’Abaami ba Kabaka mu bukulembeze, Obwerufu n’obwesimbu bwa Gavumenti ya Nnyinimu n’Ensonga endala.
Minisita Waggwa yeebazizza abantu ba Buganda olw’okujjumbira enteekateeka z’Obwakabaka naddala ey’oluwalo era nakakasa nti ensimbi ezivudde mu Luwalo ziwambye mu nteekateeka z’Obwakabaka ez’enjawulo nga okwongera ku mulimu gw’okuzzaawo Amasiro, okuwagira ensawo ky’ebyenjigiriza eya KEF, okuzimba amalwaliro, okunnyikiza kaweefube wa emmwanyi terimba, okutegeka ensiisira z’ebyobulamu n’enteekateeka endala.
Ono agamba nti ensimbi z’oluwalo ziyamba okunnyikiza Federo ey’ebikolwa n’ okusitula embeera z’abantu ba Buganda nga batuusibwako obuweereza obw’enjawulo.
Mu alipoota eyanjuddwa kitegeerekese nti essaza Kyaddondo lye lyasinga Amasaza amalala gonna ne liddirirwa Buddu, Busiro, Ssingo n’amalala ne gagoberegana.
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Owek. Joseph Kawuki, asinzidde wano ne yeebaza abantu ba Buganda olw’okutaggyibwa ku mulamwa wakati mu muyaga ogwaliwo mu 2024, ne boolesa Obuvumu okusigala nga bawagira emirimu gy’Obwakabaka ate n’okugyetabamu.
Owek. Kawuki akubirizza Abaami ba Buganda obutassa mukono mu kumanyisa bantu ba Kabaka ebifa Embuga era bongere okunyiikirira okuggusa olugendo lw’okuzza Buganda ku ntikko.

Ku lw’Abaami Ab’amasaza, Kaggo Hajj Ahmed Magandaazi Matovu yeebazizza Gavumenti ya Kabaka ekulemberwa Katikkiro, olw’okulambikanga n’okuluŋŋamya obulungi obukulembeze ate n’okufuba okulaba ng’abantu ba Kabaka batuusibwako obuweereza, ono ku lw’abalala aweze nti baakugenda mu maaso n’okubunyisa enteekateeka z’Obwakabaka mu bantu.
Wano Ssentebe w’ Akakiiko k’Ebyobulamu mu Bwakabaka, Owek. Daudi Kabanda yeebazizza Maasomoogi olw’okusoosowazanga ebyobulamu n’okulaba nti biwagirwa nnyo mu mbalirira y’Obwakabaka, era ategeezeza nti amalwaliro g’Obwakabaka mu mwaka oguwedde abiri (2) gaggulwawo ate n’asatu gali mu ku mutendera gw’okugamaliriza.
Owek. Kabanda akubirizza abantu ba Nnyinimu okwongera okwerinda obulwadde naddala mukenenya ne siriimu n’okwekuuma endwadde endala.
Kitegeerekese nti Oluwalo lw’omwaka 2025 lujja kutongozebwa nga 21 omwezi ogujja Mukutulansanja.