
Bya Miiro Shafik
Kibuli – Kyaddondo
“Okulonda kujja ne kigenda, tewali lwaki okulonda kufuuka ensonga ereetera abantu obuvune, okukubwa emiggo, okusibwa oba n’okufiirwa obulamu” Omulangira Nakibinge.
Okusaala esswala ya Eid ku muzikiti e Kibuli kukulembeddwamu Sheikh Isaaq Mutengu era kwetabiddwamu ebikonge mu busiraamu, abakungu okuva e Mengo, Bannabyabufuzi, n’abaddu ba Allah bangi ddala.
Obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka obwa Eid Adhuha, Owek. Prof. Twaha Kaawaase abusomedde abasaaze nga mu buno Beene yasabye abantu obutakoowa kusaba Allah ayise Eggwanga mu mbeera ezinyigiriza abantu, era n’akoma ku bantu obutasirika busirisi kw’ebyo ebinyigiriza kyokka n’abasaba okusooka okwefumiitiriza ku buli kye boogera.
Omulangira Kassim Nakibinge obubaka bwe obwa Eid abuweeredde mu maka ge gy’asemberezza abasaaze ku kijjulo ky’okujaguza olunaku luno. Akulisizza bonna Allah baasobozesezza okujaguza olunaku luno mirembe, kyokka n’abasaba okusabira abo abayita mu mbeera ez’entalo nga abali e Gaza, Ukraine n’awalala.
Omulangira Nakibinge akubirizza abantu okwenyigira mu nteekateeka z’akalulu akasembedde, kyokka n’alabula abavubuka obuteenyigira mu mbeera ziyinza kuleeta butabanguko mu Ggwanga. Mu mbeera y’emu asabye ab’ebyokwerinda ne bakama baabwe okukomya ebikolwa ebikosa Bannansi, omuli okubakuba emiggo, omukka ogubalalgala n’ebirala. Asabye akalulu kategekebwe mu mirembe.

Ye Supreme Mufti Sheikh Muhammad Galabuzi alaze obwenyamivu olw’okunyigirizibwa okuliwo mu Ggwanga naddala nga okusinga kutunuuliziddwa basiraamu nga muno agamba mulimu n’embeera y’amateeka okuba nti galiko be gakolako ne begatakolako, asabye wabeewo ekikolebwa okukomya embeera eno. Wano akubirizza abasiraamu okwenyigira mu kulonda ku mitendera gyonna.
Sheikh Galabuzi akubirizza abaddu ba Allah okusala ebisolo, ate bagabaneko n’abantu abalala okusobola okusanyukira awamu ku lunaku luno.
Mu kubuulira kwe, Sheikh Isaaq Mutengu akulembeddemu okusaaza Eid, naye akkaatirizza ensonga y’okubaawo ekikolebwa okukomya ebinyigiriza abantu naddala kati ng’akalulu kasembedde.
