Okusaba kw’Okujjukira Paapa Francis: Obwakabaka Busiimye Emirimu Gye

Agafa e Mengo Apr 25, 2025
Share This

Abakristo nga bakulembeddwamu Omubaka wa Paapa mu Uganda The Most Rev. Archbishop Luigi Bianco n’abantu ba Katonda abalala bakuŋŋanidde mu Lutikko e Lubaga okuyimba mmisa y’okujjukira Omutukuvu Paapa Francis.

Akulembeddemu ekitambiro kya mmisa era Omubaka wa Paapa mu Uganda Luigi Bianco atenderezza Katonda olw’obulamu bw’awadde Paapa Francis bw’agambye nti bubaddemu ebirungi bingi eri Abakristo ate n’abantu Ab’enzikiriza endala.

Ono asabye abantu okuyigira ku ebyo Paapa by’akoze naddala okwagalana n’obumu. Bianco agamba nti Omutukuvu Paapa Francis wakkujjukirwa ebbanga lyonna mu bukulembeze bw’Ekelezia olw’omukululo gw’alese.

Obwakabaka bwa Buganda butenderezza nnyo obuweereza bwa Paapa Francis, era Ssaabasajja Kabaka mu bubaka bwe obukubagiza Abakristo, yatenderezza ekifaananyi Paapa ky’alese eky’okuyimirirawo ku lw’empisa ennungi, obuntubulamu, okugatta abantu, n’okwagala okubuna, era n’asaasira nnyo Ekelezia olw’okuviibwako omuntu ow’ekikula kino.

Ku lwa Gavumenti ya Kabaka, Katikkiro Charles Peter Mayiga aweerezza obubaka, obusomeddwa Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, era ono atenderezza engeri Paapa Francis gy’abadde alina omukwano eri abantu awatali kusosola.

Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayogedde ku bumu Paapa Francis bw’abadde asomesa ate nga naye abuteeka mu bikolwa, ng’alambula ababundabunda, abali mu makomera ayagala abantu aba langi zonna ate nga teyegulumiza ng’omukulembeze era ng’afaayo okulaba nti atabaganya abantu bonna.

Bp. Anthony Zziwa mu bubaka bwa Ekelezia ya Uganda bw’asomye alaze engeri gye bafuna okunyolwa okw’amaanyi oluvannyuma lw’okufuna amawulire gw’okufa kwa Paapa naddala olw’engeri gy’abadde akuttemu obuweereza bwa Ekelezia.

Ategeezezza nti Paapa Francis abadde akubirizza abakulembeze ba Ekelezia entakera okulaga omukwano eri abo be bakulembera era bafube okunyweza obumu mu Ekelezia ya Katonda.

“Paapa Francis alambudde Ensi ez’enjawulo ng’abaunyisa enjiri ey’okwagalana, okutabagana n’okumanya Katonda, ne mu biseera bya COVID-19 yayimbanga mmisa ng’asinziira mu maka ge mu kwongera okukumaakuma abantu ba Katonda” Bp. Zziwa. Ono asabye abantu okunyweza obumu ng’akabonero ak’okujjukira Paapa Francis.

Omumyuka w’Omukukembeze w’Eggwanga Rtd. Maj. Gen. Jesca Alupo y’atuusizza obubaka bwa Pulezidenti mu kusaba kuno, mw’ayisirizza okusaasira kwe eri Abakristo ba Uganda n’ebweru, era n’atenderezza Paapa Francis olw’ebyo by’abadde ayimirirako omuli okukuuma emirembe mu Nsi, obumu n’okutabaganya abantu. Ono akubirizza abantu bonna okutwala eky’okulabirako ku Paapa Francis.

Paapa Francis yava mu Nsi ku bbalaza nga 21 oluvannyuma lwa Paasika, era ku myaka 88 gy’amaze ku Nsi, obwa abumazeeko emyaka 12. Ono waakuzikibwa enkya ku Lwomukaaga nga 26 Kafuumulampawu.

LANGUAGE