Okutumbula Obulimi bw’Emmwanyi mu Bavubuka

Agafa e Mengo Jul 04, 2025
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Obwakabaka buziza bugya omukago gwagyo ne Cafe Africa Bya Pauline Nanyonjo Bulange- Mmengo Obwakabaka buzizza buggya omukago gwabwo n’ekitongole ki Cafe Africa, omukago guno essira guliteeka ku kubangula bavubuka ku nnima y’emmwanyi ey’omulembe.

Omukago guno gwatandika mu mwaka gwa 2023 ng’ekitongole kino kikwatagana butereevu ne BUCADEF okwongera okubunyisa enjiri y’emmwanyi mu bantu ba Buganda.

Mu kujjulira okuzza obuggya omukago guno, Minisita w’Ebyobulimi, Obwegasi, Obusuubuzi n’Obuvubi Owek. Hajji Amisi Kakomo asoose kugumya bannayuganda ku bbeeyi y’emmwanyi egudde ensangi zino ng’abajjukiza nti emmwanyi eringa ekirime ekirala kyonna ekigulwa ebbeeyi ennene ate n’entono kuba n’abasinga okugitunda mu katale k’Ensi yonna ba Brazil ne Vietnam bakomyewo kyokka nti abantu tebasanye kweraliikirira kuba ebbeeyi ya kati esingako ku bwe yali mu myaka 7 egiyise.

“Akatale kakyukakyuka olw’ebiseera, nga bwe tulaba abasubuzi b’ente ku ssekukulu ne Eid nga basambira waggulu, n’olwekyo twetegekere essaawa ey’ebbeeyi entono n’ebbeeyi ennene, ne banaffe ababadde ku kyeeya bavuddeyo” Owek. Kakomo bwategezeza.

Owek Kakomo mu ngeri y’emu asabye abalimi okwongera ku mutindo gw’emmwaanyi ze balima olwo n’abazitwala ku katale zibanguyire era bongere okuziyaayanira. Wano yebazizza bannamukago aba Cafe Africa olw’okusakiranga Obwakabaka ate n’okubangula abalimi b’emmwanyi naddala abavubuka ate ne babayamba ne ku kuwandiisa abalimi mu masaza oluvannyuma lwe kitongole kya UCDA okugibwawo.

Ssentebe wa bboodi ya BUCADEF Omuk. Dr Ben Ssekamate annyonyodde nti BUCADEF erina omulamwa kw’etambulira Ssaabasajja gwe yabawa omuli okuwa abantu be enkulaakulana ewangaala nga bagataganya obuwangwa ne tekinologiya. Ono naye yebazizza ABA Cafe Africa olw’okutambula ne BUCADEF mu kuyigiriza abalimi ennima ey’omutindo, okugaba endokwa z’emmwaanyi wamu n’okusomesa abalimisa.

Ssentebe wa boodi ya Cafe Africa Dr. Fred Kawuma alaze nti Cafe Africa ebadde eyagala nnyo omukago ogubaddewo wakati waabwe ne BUCADEF wansi w’Obwakabaka okusigalawo era kati je bazizza obuggya bakukolera wamu wansi wa pulojekiti ya ‘Youth for Coffee initiative’ nga batumbula embeera z’abavubuka okuyita mu kulima emmwanyi.

Abamu ku bajjulidde okuzza obuggya omukago guno eno ye Oweek Noah Kiyimba, Omuk. Charles Kironde Ssenkulu wa Mwanyi Terimba Ltd ,Samson Emong Ssentebe wa Cafe Africa wamu n’abawereza okuva mu bitongole ebibiri nga endagaano yakumala emyaka 2.

LANGUAGE