Okuyimba Mulimu, Mwewale Okuwemula – Katikkiro Mayiga

Agafa e Mengo Apr 29, 2025
Share This

Katikkiro Charles Peter Mayiga alabudde abayimbi ne bannabitone obutazannyira mu mirimu gwabwe naddala abo abakola ebyesitaza abantu. 

Bino abyogedde asisinkanye omuyimbi Sophie Nantongo azze Embuga okuloopa ekivvulu kye ekiriyo ku Lwokutaano luno ku Serena Hotel.

Kamalabyonna agamba nti Obwakabaka buwagira abayimbi ne bannabitone nga bwe buwagira bannamawulire, bannamateeka, abalimi b’emmwanyi, abasomesa n’abalala kubanga nabo kye bakola mulimu ate oguwa n’abantu abalala bangi eby’okukola.

 Annyonnyodde nti omuyimbi okutuuka okukola ekivvulu ayita mu mitendera mingi egurimu abamukwatirako ate nga nabo bafunamu mu kuyimba era eby’okulabirako awadde eby’abawandiisi, abategesi b’ebivvulu, abakuba ebivuga n’abalala.

Owek. Mayiga yebazizza nnyo omuyimbi Sophie Nantongo olw’okukuuma ekitiibwa ky’e ng’omuyimbi n’atadda mu nnyimba ziwemula oba okweyisa mu mbeera eyeesitaza.

 Akunze abantu okugenda okumuwagira, n’akikaatiriza nti ennyimba ate ziwooma nnyo nga ziludde ku katale kubanga abantu babeera bazimanyi era nga bazinyumirwa.

Minisita avunanyizibwa ku bitone mu Buganda Owek. Robert Serwanga agamba nti kimanyiddwa bulungi nti Buganda ky’ekitundu mu Buganda ekisinga okuwagira abayimbi, era wano ne Maasomoogi kwe kusiima n’ateekawo Minisitule eyambako mu kwongera okutumbula ebitone. 

Ono era yebazizza Katikkiro olw’okuwagira bannabitone era n’abasembezanga bulijjo.

Ye Omuyimbi Sophie Nantongo asiimye nnyo Katikkiro olw’okukumaakuma Bannabitone, okubaagala n’okubawagiranga.

Nantongo agamba nti ekya Katikkiro okubasembezanga kibongera obuvumu era kiraga Ensi ne Bannabitone ba nkizo mu ggwanga. Amwebazizza n’olwokuwagiranga abakyala naddala ng’abakubiriza okukola ate n’okulaga nti bbo gwe musingi gw’Eggwanga eddungi.

Sophie Nantongo asinzidde wano n’asaba Katikkiro okubeerawo ng’omugenyi Omukulu mu kivvulu kye kyongere okuggumira.

LANGUAGE