Olumbe kikolwa ekinyweza Ebika-Katikkiro Mayiga

Agafa e Mengo Jan 19, 2025
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Nkumba – Busiro

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga agamba nti omukolo gw’
okwabya olumbe mukolo gwa Buwanga era gwa bwa sseruganda ogulaga obumu n’ obunywevu bw’ Ebika.

Bino bibadde mu bubaka Kamalabyonna bwatisse Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Oweek Patrick Luwaga Mugumbule mu kwabya olumbe lwa Dr. Paul Kawanga Sssemogerere n’olwa Joseph Ssemakula e Nkumba mu Busiro.

Ow’Omumbuga Mayiga agamba nti abantu bwe banyweza Ebika byabwe n’obwa sseruganda awo bajja kusobola okuzza Buganda ku ntikko.

Kamalabyonna Mayiga ayogedde ku mugenzi
Dr. Paul Kawanga Sssemogerere ng’eyali musajja wa Kabaka atamumunyizibwamu era obuweerezaabwe bwassa ettoffaali ddene mu kuzimba obwakabaka okuli; okubeera ssentebe w’enteekateeka z’amatikkira ga Kabaka mu 1993. Mu buufu obwo Beene yamusiima n’amuwa e Jinja ery’omuwendo mu kukuza amazaalibwa ga Kabaka ag’e 65 mu 2020 mu kiseera kya lumiima mawuggwe.

Omukolo gukulembeddwamu ekitambiro ky’e mmisa ekiyimbiddwa Ssaabasumba Paul Sssemogerere.

Wano Gerald Charles Ssemogerere yasikidde Jjajjaawe Dr. Paul Kawanga Sssemogerere ne Lubuga Joselyn Namakula, ate Joseph ssemakula asikiddwa Muyiisa Raymond mutabani wa John Baptist Kawanga, Nabukalu Caroline n’abeera lubuga we.

Omulangira David Kintu Wasajja, asinzidde wano naasaba bannabyabufuzi okukola eby’obufuzi eby’ekisajja kikulu ebitayawulayawula mu bantu nga omugenzi Ssemogerere bweyatakabaniranga eddembe mu by’obufuzi ebitaliimu kutyoboola kitiibwa na bulamu bwa muntu.

Ye Nnamwandu Jeremima Ssemogerere, yenyamidde olw’olutalo olwayonoona obuzaale n’entambula yaabwe nga ab’Ekika ky’Engabi ennyunga nti ebintu bingi byayonooneka.

LANGUAGE