Omubaka wa Japan mu UNESCO alambudde Amasiro g’e Kasubi

Amawulire May 07, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Kasubi – Kyaddondo

Omubaka wa Japan mu UNESCO nga atuula Bufalansa HE. Kano Takehiro akyaddeko ku Masiro g’e Kasubi okwetegereza emirimu wegituuse egy’okuddaabiriza ekifo kino okutuukana n’omutindo gw’ebifo by’obulambuzi ebirabirirwa UNESCO.

Omugenyi w’Obwakabaka ono ayaniriziddwa Minisita w’Obuwangwa, ennono n’Obulambuzi Oweek. Dr. Anthony Wamala ne Minisita w’Amawulire Oweek. Israel Kazibwe Kitooke.

Oweek. Wamala alaze H.E Kano Takehiro engeri Obwakabaka gye bwetegekeddemu ebizibu nga; omuliro singa guddamu okukwata mu Masiro, alaze n’obukodyo ku nkozesa y’ebyuma ebizikiza omuliro era amutegeezezza ku mulimu gw’okuzzaawo amasiro gusemberedde okukomekjerezebwa nga mu kiseera kino wasigaddeyo ebintu bitono nnyo galyoke gaggulwewo okugeza, okuteeka obujjo mu luggya, okulongoosa kaabuyonjo, n’ebirala.

H.E Kano Takehiro agamba nti omulimu gw’okuzzaawo Amasiro kyakulabirako kya maanyi mu Nsi yonna era kisoosowaziddwa nnyo mu kitongole kya UNESCO ne gavumenti ya Japan nga ebifo ebirina okukulaakulanyizibwa kubanga kyakuyigirako mu Bwakabaka obw’ensikirano.

HE. Kano Takehiro yeebaziza nnyo Obwakabaka okukwatagana ne UNESCO, gavumenti ya wakati mu kuzzawo omulimu ogw’omuwendo nga kati Amasiro gajjiibwako ku lukalala lw’ebifo by’obuwangwa ebiri mu katyabaga.

Ssenkulu w’Ekitongole ky’Obwakabaka eky’ebyobulambuzi Omuk. Najib Nsubuga agamba nti Obwakabaka bwakwasa ekitongole kyabwe obuvunaanyizibwa bw’okwegezaamu ku mbeera y’okwanirizaamu abagenyi mu kifo kino era ku mugguukiriro awatuukirwa abagenyi, awasimbwa ebidduka n’ebirala, waziddwa buggya okusobozesa abalambuzi okwegazaanyiza obulungi mu Masiro.

Omubaka wa Japan mu UNESCO awerekeddwako abakungu ab’enjawulo okuli Kamisona wa UNESCO mu Uganda Muky. Agoi Rosie, Mw. Lukwago Dennis okuva mu Minisitule ya Gavumenti ey’Ebisolo by’Omunsiko, Omukwanaganya wa woofiisi ya UNESCO mu Uganda Mw. Draecabo Charles n’abalala.

Japan yawayo ekyuma ekizikiriza omuliro kikozesebwe mu Masiro okwetangira obuzibu obuyinza okuva ku muliro.

LANGUAGE