
Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Omukulu w’Ekika ky’Engabi Ennyunga Omutaka Daniel Kannyana Kiwana, alangiridde Omw. Muyunga Stephen nga Katikkiro w’Ekika kino omuggya.
Omutaka Kiwana ategeezezza nti gyebuvuddeko Katikkiro omuwummuze Dr. Abaasi Kabogo Mukyondwa yafuna obukosefu obutakyamusobozesa kuweereza kwe kusalawo okulonda Katikkiro we omulala atambuze emirimu gy’E kika.
Kannyana yebazizza nnyo Katikkiro omuwummuze olw’emirimu gyakoledde Ekika n’okuleka nga ateeseteese abakulembeze abalala mu kika kino.
Agambye nti Katikkiro omuggya Muyunga Stephen bamulinamu essuubi ddene kubanga musajja mukozi era atuusizza Ekika ku buwanguzi obwenjawulo. Muyunga Stephen yasooka kubeera muwanika era Omwogezi w’ekika oluvanyuma n’asumuusibwa ku bumyuka bwa Katikkiro owookubiri, okutuusa kati lwafuuliddwa Katikkiro w’Ekika omujjuvu.
Katikkiro Omuggya Muyunga bw’abadde awayaamu naffe yeebazizza Abataka mu Kika wamu ne Jjajja Kanyana olw’okumulengera era neyeeyama okutuukiriza obuvunaanyizibwa obumutumiddwa mu ngeri yonna esoboka.
