Omukago gw’Obwakabaka ne Habitat for Humanity

Amawulire, Agafa e Mengo May 15, 2025
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Mmengo – Kyaddondo

Obwakabaka buzizza buggya omukago gwabwo n’ekitongole kya Habitat for humanity, okwongerayo ne kaweefube w’okuzimbira abantu ba Kabaka abeetaaga okubeerwa ennyumba ezisulwamu

Enteekateeka eno yatongozebwa Ssaabasajja Kabaka bwe yali akwasa Mw. Abubakar Ssentongo ennyumba ezimbiddwa obulungi mu bitundu bye Bwerenga Garuga, nga eriko kabuyonjo, ekiyungu, ebisenge ebisulwamu abakulu n’Abaana ssaako n’eddiiro eddene ddala.

Minisita w’Ekikula ky’Abantu mu Bwakabaka, Owek. Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja ku lw’Obwakabaka yatadde omukono ku ndagaano ate akulira Habitat for humanity mu Uganda, Omw. Paul Okiring, n’assaako ku lw’ekitongole kyakulembera.

Omukolo gubadde mu bulange e Mmengo nga gujuliddwa Mw. Augustine Bagenda akwanaganya ebyabavujjirizi mu kitongole kya BICUL, ne Muky. Teddy Nabakooza Galiwango, Omukwanaganya w’Obutondebwensi mu Bwakabaka.

Emu ku nnyumba ezizimbiddwa eri abantu ba Kabaka okuyita mu mukago guno
LANGUAGE