Bya Miiro Shafik
Bulange – Kyaddondo
Abakulembeze b’Abavubuka mu kibiina kya NRM bakyaddeko Embuga ne basisinkana Katikkiro ne Minisita w’Abavubuka mu Buganda.
“Emyaka egy’obuvuka mikulu nnyo mu bulamu bw’omuntu era bw’okola eby’omugaso ng’oli muvubuka, emirundi egisinga obungi bw’okula era Ensi gwe gwebeera etunuulidde era kye muva mulaba nga omuntu atalina bye yakola bya mugaso nga muvubuka bwe bamuwa obuvunaanyizibwa ng’akuze abbamaabbama ng’ayogera ebitasaana” Katikkiro Mayiga.
Katikkiro Mayiga agamba nti obuvubuka ly’eggunjuliro ly’obuntu yenna era si kirungi muntu kuva mu myaka gya buvubuka nga talina kirungi na kimu kyagikoleddemu. Ayongeddeko nti okuyingira ebyobufuzi mu myaka gy’ekivubuka kirungi nnyo wabula omuntu alina okuba ng’aliko ky’amaanyi okukola.
“Toyinza kubeera bubeezi awo nga ebyobufuzi byokka byomanyi, kati bwe binnagwawo oluusi nga tebakulonze, kirungi nga olina obukugu okusooka, oba oli mulimi, oba musawo oba mulunzi, ebyobuzi bwe bigaana ng’odda mu mulimu gwo” Owek. Mayiga.

Entanda ya Katikkiro eri abavubuka abayingira eby’obufuzi;
Bw’oba oyingira ebyobufuzi ng’oli muto, weetegeke okuyiga, obuzibu bw’abavubuka bingi bye babeera tebamanyi naye nga bbo bamanyi bakugu, bamala kukula ne bamanya nti ebimu baali mu nsobi.
Ayingira ebyobufuzi alina okuwaayo obudde okutendekebwa, okufuna obumanyirivu n’enkwata y’Abantu. Abantu balina embeera zaabwe za njawulo ezitafaanana nga buli omu weetaaga okumanya bw’omukwata.
Omuvubuka ayingira ebyobufuzi alina okusooka okumanya ebisoomooza eggwanga, naakuŋŋanya ebirowoozo okumanya ekiteekeddwa okukolebwa okunogera eddagala ebizibu ebiri mu ggwanga. Eky’okulabirako, nti Uganda erina ebizibu nga; bwavu, ebbula ly’emirimu, enguzi, enfuga etagoberera amateeka n’ebirala, oyo yenna ayagala okukulaakulanya eggwanga, bino alina osooka okumanya bw’anaabisalira amagezi
“Ebyobufuzi bwe bukulembeze obuteekeddwa okutemera abantu empenda basobole okuvvuunuka ebizibu n’eggwanga okugenda mu maaso, kino kye kigendererwa ekituufu eky’ebyobufuzi sso ssi bitiibwa kuyitibwa honourable na biki” Katikkiro Mayiga.
Ye Minisita w’Abavubuka mu Buganda Owek. Robert Serwanga agamba anti Kabaka yawa abavubuka omulembe gwe, kyokka abo bonna abaagala okubaako ebirungi bye bakola mu mulembe Kabaka gwe yabakwasa nga bayita mu by’obufuzi bateekwa okubaako bye batuunuuliza amaaso era ne babiteeka mu nkola.

Entanda ya Minisita w’Abavubuka eri Abavubuka Abagenda mu Byobufuzi
1. Omuvubuka yenna alina okusooka okumanya wa Uganda gyevudde, eyimiridde etya kati, era ye ayagala obukulembeze ayagala okugigattako ki…?”
2. Omuvubuka yenna ayingira ebyobufuzi olina okuba ne kyokoledde abantu bo, ate nga naawe olina ky’omanyi okukola, bw’oba tolina kyomanyi kukola era nga tolina ky’okoledde bantu bo, sooka ebyobufuzi obireke osooke weteeketeeke olyoke ogende obakulembere” Minisita w’Abavubuka mu Buganda.
3. Buli muntu avuganye mu kitundu gye bamuzaala oba gy’akulidde ng’amanyi bulungi ebifa mu kitundu ekyo. Si kirungi kwesimbawo mu kitundu kyotanyi, kubanga mujja kukolerayo ensobi, obwetaavu bw’abantu nga bulala, naawe ng’okola birala.
Minisita Serwanga akubirizza abavubuka mu Buganda okwewandiisa mu bibiina, ate bavuganye bulungi era bawangule ebifo by’okulembeze ebyenjawulo.
Ebigambo bino bijjidde mu kiseera nga Eggwanga lyetegekera akalulu ka bonna ak’omwaka 2026, wabula nga enteekateeka z’ebyokulonda ez’enjawulo zigenda maaso nga; okukebera enkalala z’abalonzi, obumyufu bw’abibiina n’ebirala.