Owek. Kazibwe asabye bannamawulire okulwanirira Obutondebwensi

Agafa e Mengo Feb 13, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Kampala – Kyaddondo

Minisita w’amawulire, Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke asabye bannamawulire okusoosoowoza ensonga z’obutondebwensi n’ebintu ebirala ebityobola obutonde bwaffe nga byongeza ebbugumu erisukiridde ensangi zino.

Okwogera bino abadde ku Ssettendekero wa Ndejje mu Kampala gy’abadde omugenyi omukulu nga ssettendekero ono ajaguza olunaku lwa leediyo mu nsi yonna ku Lwokuna.

Owek. Kazibwe agamba nti obutonde bwensi kikulu nnyo ekitalina kulekebwa ttayo kubanga bino bikwatagana butereevu n’ennono za Buganda era kwekwesigamye ebiseera eby’omu maaso.

Ono abategezeeza nti Obwakabaka bulina enteekateeka ezitaasa okutyobola obutondebwensi okugeza nga okusimba Ekibira kya Kabaka mu buli ssaza lya Buganda, okukubiriza abantu okulima emmwanyi awatali bibira, okusimba emiti buli kwanjula.

Ssettendekero ono era asiimye bannamawulire abakoledde ekisaawe kino okumala ebbanga nga mu bwo abakozi ba Leediyo ya Kabaka CBS awamu ne Terefayina basimiiddwa olw’obuwereza nga ku bano kubaddeko Abu Kawenja owa CBS, Ssuuna Ben owa Bukedde FM, Abbey Mukiibi owa CBS awamu n’abalala.

Olunaku luno lutambulidde ku mulamwa ogugamba nti “Enkyukakyuuka ya Leediyo n’Obutondebwensi.”

LANGUAGE