
Bya Samuel Stuart Jjingo
Mutundwe – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubiriza abantu okukulembeza obwerufu okuva mu maka gabwe gyebava olwo kibune n’emu mbeera zabwe ez’obuntu.
Obubaka bwe buno busomeddwa Minisita w’Amawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Oweek Israel Kazibwe Kitooke bw’ abadde amukiikiridde ku mukolo g’okwabya olumbe lwa Hon. Kato Lubwama olutegekeddwa mu maka g’Omugenzi agasangibwa e Kisigula mu Kyaddondo.
Katikkkiro ayogedde ku Kato Lubwama nga eyali munabitonne ow’enjawulo nga yakozesa ekitone kye okw’ebbulula okukyuusa embeera gyeyakuliramu nafuuka omuntu alabilwako abantu.
Omukolo guno gutandise nakusaba okukulembeddwamu Paasita Aloysius Bujjingo naategeza nti emikolo gy’okutuuza omusika tegirimu sitaani nga era Bayibuli ekirambika bulungi.
Omugenzi Kato Lubwama asikiddwa Conrad Ssaabwe Lubwama era ono yeebaziza nnyo kitaabwe olw’okubakuza nga bassa ekitiibwa mu Bwakabaka.
Lubwama
yeebaziza Omugenzi olw’okutwala abaana be ku ssomero era wano baguddewo amakakalabirizo agatendeka mu bannakatemba nga ekijjukizo era nga zitumiiddwa “Kato Lubwama studios”
Munnakatemba Charles James Ssenkubuge ayogedde ku lwa bannakatemba asabye abantu bonna okussa ekitiibwa mu Bwakabaka bwa Buganda kubanga Buganda ye nnyaffe.

Eyakulembeddemu enteekateeka zino, Hon. Muhammad Nsereko akunze bannabitonne okulabira ku Hon. Kato Lubwama olw’okubera nemikwano emingi nga gyonna gyamugaso mu bulamu bwe.
Omukolo guno gwetabidwaako abakulembeze okuva mu Bwakabaka ne gavumenti ey’awakati, ababaka ba Palamenti ab’enjawulo nabantu abalala.