Owek. Nsibirwa atenderezza Rev. Samuel Muwonge

Amawulire Jan 26, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Kyaddondo

Omumyuka ow’Okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa atenderezza emirimu egikoledwa Rev. Samuel Muwonge mu kitongole ekibuulizi ky’enjiri eky’obulabirizi bwe Namirembe naasaba abantu bulijjo okukolera namaanyi gabwe gonna.

Obubaka buno abuweeredde mukusaba Rev. Muwonge kweyeebaliza Katonda kwebyo byasobodde okumukozesa ku Ssande e Namirembe.

Owek. Waggwa azizaamu omujaguza Rev. Samuel Muwonge amaanyi naamutegeeza nti Paulo ye mubulizi w’enjiri akyasinze okulumbibwa mu Bayibuli olwo namukowoola obutakoowa kubanga ekyo kyakola kuyitiibwa era n’asaba Katonda amutwalire awo.

Omulabirizi eyawumula owa St. Paul’s Cathedral Namirembe, Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira yakulembeddemu okusaba kuno nga ategezeeza nga okwebaza bwekiri ekikolwa kya Katonda era kisaanidde okukolebwa mu lujjudde bwatyo neyeebaza Rev. Muwonge olw’ obuweereza.

Omujaguza Rev. Samuel Muwonge yeebaziza nnyo abantu abamubereddewo mu buweereza bwe n’abo abamulwanyisizza kubanga bebamuwadde amaanyi n’obuvumu mu ntambuza ye ey’emirimu.

Okusaba kuno kwetabidwaamu Omuk. Canon Dr. John Fred Kazibwe n’Omukyala, Omulabirizi w’e Namirembe Rt. Rev. Moses Bbanja, abalabirizi ab’enjawulo, abakulembeze okuva mu gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka ne Gavumenti ey’awakati n’abantu abalala bangi.

Kinajjukirwa nti Rev. Samuel Muwonge abadde akulembera ekitongole ekibuulizi ky’enjiri eky’obulabirizi bwe Namirembe era nga asindikiddwa ku mirimu emirala egy’ekanisa e Kitende

era nga asindikiddwa ku mirimu emirala egy’ekanisa e Kitende.

Oweek. Waggwa azizaamu omujjaguza Rev. Samuel Muwonge amaanyi namutegeeza nti Paulo ye mubulizi w’enjiri akyasinze okulumbibwa mu Bayibuli olwo namukowoola obutakoowa kubanga ekyo kyakola kuyitiibwa era n’asaba Katonda amutwalire awo.

Omulabirizi eyawumula owa St. Paul’s Cathedral Namirembe, Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira yakulembeddemu okusaba kuno nga ategezeeza nga okwebaza kikola kya Katonda era kisaanidde okukolebwa mu lujjudde.

Omujjaguza Rev. Samuel Muwonge yeebaziza nnyo abantu abamubeleddewo mu buwereza bwe n’abo abamulwanisiza kubanga bebamuwadde amaanyi n’obuvumu mu ntambuza ye ey’emirimu.

Okusaba kuno kwetabidwaamu Omuk. Canon Dr. John Fred Kazibwe n’Omukyala, Omulabirizi w’e Namirembe Rt. Rev. Moses Bbanja, abalabirizi ab’enjawulo, abakulembeze okuva mu gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka ne Gavumenti ey’awakati n’abantu abalala bangi.

LANGUAGE