
Bya Miiro Shafik
Paapa Leo XIV, ly’erinnya Kalidinaali Robert Prevost lye yalonze oluvannyuma lw’okulondebwa nga omusika wa Petero era Paapa ow’e 267.
Robert Francis Prevost wa myaka 69, ye Paapa okuva mu America asookedde ddala mu byafaayo bya Ekelezia. Ono yazaalibwa mu Chicago mu 1955.
Mu 2015, Paapa Francis yamufuula Omusumba wa Chiclayo mu Peru. Nga 30/09/2023 Paapa Francis yamulonda ku bwa Kalidinaali n’amutuma okuweereza mu bu dinkoni obwa ‘Saint Monica’
Paapa Leo ne Paapa Francis omugenzi kati bafaananya endowooza ku nsonga z’abagwira, abaavu wamu n’obutondebwensi. Bino bikakasibwa ebimu ku bigambo by’azze ayogera mu bukulembeze bwe
“Nazaalibwa mu America, kyokka bazadde bange bombi baali bagwira omu okuva e France omulala e Spain, nakulira mu maka ga bakatoliki era bazadde bange baali bawereza ba nkizo mu kigo” Prevost.
Paapa Leo azaalibwa omwami Louis Marius Prevost n’omukyala Mildred Martinez era alina baganda be abalenzi babiri; Louis Martin ne John Joseph.
Olukiiko lwa ba Kalidinaali 133 lwe lwatudde e Vactican mu St. Peter’s Basilica, ng’eno omukka omuddugavu ogulaga nti Paapa tanafunika gwalabiddwako emirindi ebiri (2) kyokka oluvannyuma mu kawungeezi ku Lwokuna 8/05/2025 omukka omweru galabiddwako okukasa Abakristu nti Paapa omuggya afuniddwa.
Paapa Leo XIV oluvannyuma yazze mu ddirisa lya Basilica era n’ayogerako eri Abakristu abaabadde mu kifo kino, mu bigambo bye, yatandise na kwagaliza bantu bonna mirembe;
“Emirembe gibeere gye muli mwenna, ffenna tusobola okutambulira awamu okutuuka mu nsi ensuubize Katonda gye yatutegekera”
“Tutambulire wamu okuzimba Ekelezia ezimba entindo, okuwuliziganya era tugulewo emikono gyaffe eri abo bonna abeetaavu, tubeere wamu nabo era tubalage okwagala”
Paapa Leo XIV tumwagaliza obuweereza obulungi n’ekisa kya Katonda u buvunanyizibwa bwe obuggya.