Pasita Bujingo aguze emijoozi gya bukadde

Amawulire Mar 25, 2025
Share This

Bya Shafik Miiro 

Bulange – Mmengo

Katikkiro Charles Peter Mayiga akwasizza Omusumba Aloysius Bugingo emijoozi gy’emisinde emisana ga leero bw’azze Embuga ne mukyala we Suzan Namakula wamu n’abagoberezi be okuva mu House of Prayer Ministries ne Salt Media

Omusumba Bugingo ategezeeza nti baguze emijoozi gya bukadde mukaaga ne baleeta n’ente 2 ng’ebirabo eri Ssaabasajja Kabaka ku mazaalibwa ge ag’emyaka 70. 

Ono agamba  nti benyimiriza nnyo mu nteekateeka z’Obwakabaka era bavuddeyo nabo okulwanyisa siriimu nga Kabaka bw’akulembeddemu.

Katikkiro asinzidde wano n’ategeeza nti Buganda ya bantu bonna kasita oli akitegeera nti Kabaka kye kitikkiro kya Buganda. 

Bwatyo era yebazizza Omusumba Bugingo ne baakulembeddemu okukiika embuga olw’okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka naddala ku mulamwa oguliwo kati ogw’okulwanyisa mukenenya.

Katikkiro mu ngeri y’emu akunze abantu ba Buganda okunyweza obumu naddala nga bajjumbira emisinde gy’omwaka guno mu kiseera kino.

#KabakaMutebiAt70

#KabakaBirthdayRun2025

LANGUAGE